TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Abawagizi abanvumbye enkima ba kyalo - Fred

Abawagizi abanvumbye enkima ba kyalo - Fred

Added 9th December 2019

Fred yeegatta ku ManU ng'ava mu Shakhtar Donetsk eya Ukraine oluvannyuma lwa World Cup ya 2019.

 Fred omuwuwuttanyi wa ManU ng'asanyukira ggoolo mu mupiira ogumu gye buvuddeko.

Fred omuwuwuttanyi wa ManU ng'asanyukira ggoolo mu mupiira ogumu gye buvuddeko.

OMUWUWUTTANYI wa ManU, Fred agambye nti abawagizi abaamung'odde ne bamuvuma enkima ba mabega nnyo.

Nga ManU ewangula Man City ggoolo 2-1 ku Lwomukaaga, abawagizi ba Man City abamu baasiiwuuse empisa ne bang'oola Fred abamu ne bamukasukira ebicupa bwe yabadde aleeta ekkoona.

Fred, omu ku bazannyi abaasinze okwolesa omutindo mu nsiike eyo, agamba nti abawagizi abang'oola abazannyi balimu ekyalo era ba mabega nnyo.

Jesse Lingard ye muzannyi omulala ku be baavumye enkima ku mupiira ogwo.

Fred agamba nti ne we yazannyiranga mu Shakhtar Donetsk eya Ukraine, era abawagizi baamuvumanga enkima.

ManU, yawangudde omupiira guno n'erinnya mu kifo ekyokutaano mu Premier. Bali ku bubonero 24 mu mipiira 16.

Abakungu ba FA nga bakolaganira wamu n'aba Man City baakwatidde wamu ne babaako abawagizi be baakutte olw'okusiiwuuka empisa.  

Ku Lwokuna, ManU yaakuttunka ne AZ Alkmaar eya Budaaki mu gwa Europa.

ManU yayitamu dda okwesogga oluzannya oluddako mu mpaka zino.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...

Dr. Donald Rukare (ku kkono) ne David Katende.

'Gavt. terina ssente zikebe...

ABAKUNGU b'ebibiina by'emizannyo bannyogogedde e Lugogo, Gavumenti bwe yakabatemye nti tejja kubawa ssente zikebeza...

Moses Magogo, Pulezidenti wa FUFA

FUFA eweze ttiimu okutendek...

FUFA eweze ttiimu zonna okutendekebwa n’okuzannya omupiira kagube gwa mukwano. Ekiragiro kino kikola okutuusa nga...