TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Abaana abava mu bitundu by'omugotteko bajuniddwa

Abaana abava mu bitundu by'omugotteko bajuniddwa

Added 9th December 2019

Abaana abava mu bitundu by'omugotteko balabuddwa kutumbua ttalanata zaabwe

  Omuteebi wa KCCA FC, Sadat Anaku (emabega ku ddyo) yaduumidde Acholi Qaurters FC bwe yabadde ettunka ne Police mu gwaguddewo empaka za Acholi Quarters Slum Soccer Tournament 2019. Acholi  yawangudde ggoolo 2-0.

Omuteebi wa KCCA FC, Sadat Anaku (emabega ku ddyo) yaduumidde Acholi Qaurters FC bwe yabadde ettunka ne Police mu gwaguddewo empaka za Acholi Quarters Slum Soccer Tournament 2019. Acholi yawangudde ggoolo 2-0.

 

ABAANA n'abavubuka ababeera mu bitundu by'omugotteko mu munisipaali y'e Nakawa basambira mabega nga jjanzi oluvannyuma lw'ekibiina ekiddukanya omupiira mu Bulaaya ekya UEFA okubawa ebikozesebwa mu mupiira.

Aba UEFA nga bayita mu kitongele kyabwe ekigaba obuyambi ekya UEFA Foundation baawadde abaana emipiira, obutimba, emijoozi, engatto n'ebintu ebirala ebikozesebwa mu kutendekebwa. Baabiyisizza  mu kibiina kya Aliguma Foundation ekyabibakwasizza mu kaggulawo empaka za ‘Acholi Quarters Slum Soccer Tourament'.

Empaka zino, ezaatandise ku Lwomukaaga, zeetabiddwamu ttiimu 24 okuva e Naggulu, Mbuya ne Nakawa era ng'omuwanguzi wakuweebwa sseddume w'ente.

 baana bomu bitundu bya choli uarters nga bali nebimu ku bintu ebyabawereddwa Abaana b'omu bitundu bya Acholi Quarters nga bali n'ebimu ku bintu ebyabaweereddwa

 

" Mukuume empisa, mubeeraa bayonjo ate munnyikize emizannyo kubanga musobola okugyeyambisa a okuyitimuka n'okukyusa embeera z'obulamu bwammwe," Rita Aliguma, akulira Aliguma Foundation bwe yabakuutidde ng'abakwasa ebintu bino.

Abakulira Abato Schools ne Shepherd House Junior School, baawaddeyo sikaala 20 eri abaana okuva mu kitundu kya Acholi quarters okutandika n'omwaka ogujja.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Jackson Musisi kitunzi w'essaza lya Gomba ku kkono ng'akwasa Mansoor Kamoga obuvunaanyizibwa bw'essaza

Aba ttiimu y'essaza lya Gom...

OLUVANNYUMA lw’ Essaza lya Gomba okusaasaanya ssente empitirivu mu kugula abazannyi, abakungu baalyo bafunyemu...

Omutendesi Bamweyana ng'assa ku ndagaano omukono

Omutendesi Bamweyana olwega...

OMUTENDESI omuggya owa Wakiso Giants FC mu Star times Uganda Premier League, Douglas Bamweyana asuubizza omupiira...

Bryan White kati asizza ku ku byuma

Bryan White mulwadde muyi: ...

Bryan White mu kiseera kino asizza ku byuma amaze wiiki biri mu ddwaaliro ly'e Nakasero kyokka embeera ye ekyagaanye...

Kato Lubwama nga tebannamulongoosa

Omubaka Kato Lubwama bamulo...

OMUBAKA Kato Lubwama ( Lubaga South) amaze essaawa ssatu mu sweeta ng'abasawo bamulongoosa n'okumwekebegya omulundi...

Masaka City etongozeddwa wa...

WADDE nga wazzeewo okusika omuguwa mu kutongozebwa kw'ekibuga Masaka ekyafuuliddwa CITY tekirobedde bakulembeze...