TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Magogo amazeeko ekibonerezo ky'okutunda tiketi

Magogo amazeeko ekibonerezo ky'okutunda tiketi

Added 10th December 2019

Pulezidenti wa FUFA, Moses Magogo asuubirwa okukomawo mu ofiisi oluvannyuma lw'ekkoligo ly'emyezi ebiri nga teyeenyigira mu mupiira

 Magogo (ku kkono) ne Edgar Watson, akulira emirimu mu FUFA

Magogo (ku kkono) ne Edgar Watson, akulira emirimu mu FUFA

PULEZIDENTI wa FUFA, Moses Magogo ku Lwokusatu nga December 11, lw'asuubirwa okuddamu okukakkalabya emirimu gye, oluvannyuma lw'okumalako ekkoligo ly'emyezi ebiri eryamuweebwa FIFA.

FIFA, ekibiina ekiddukanya omupiira mu nsi yonna kyakaliga Magogo emyezi ebiri nga teyeenyigira mu kintu kyonna kyekuusa ku mupiira, oluvannyuma lw'okuzuulibwa nti yaguza omusuubuzi wa Amerika, tiketi ze yalina okuwa Bannayuganda ku bbeeyi ensaamusaamu, bagende banyumirwe World Cup eyali mu Brazli mu 2014.

Ekibonerezo kino, ekyatandika nga October 10, kyaweddeko ku Mmande nga December 9, era Magogo abadde asuubirwa mu ofiisi ku Lwokubiri nga December 10, wabula teyasobodde.

hmed ussein omwogezi wa  Ahmed Hussein, omwogezi wa FUFA

 

Omusango ogwaleetera Magogo embererezi gwawabwa omubaka Allan Sewanyana (Makindye West) mu 2017, Magogo bwe yatuuka mu FIFA n'agukkiriza n'akaligibwa n'atanzibwa ne doola 10,000/-.

Akulira ebyempuliziganya mu FUFA, Ahmed Hussein, yategeezezza nti beetegese okumwaniriza mu ngeri ey'enjawulo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusajja yansuulawo ng'omwa...

Nze Scovia Twetise 28, mbeera Bulamu-Gazaya, Texas. Mu 2005, nalina emyaka 15 omusajja yantuukirira n’ahhamba nti...

Eyagenda okusoma ddiguli e ...

Talina mpapula kw’akolera era agamba tasobola kudda kubanga bw’adda taddayo

Abatudde okuva ku kkono; Godfrey Nyola, Saul Kizito, Isaac Ngobya ne Pasita Paul Musisi ate abayimiridde okuva ku kkono; Kennedy Lubogo, Edward Baguma, Jimmy Ssekandi

Aba 'Former Footballers In...

Abaaguzannyako abaabaddewo kuliko; Saul Kizito (Nile FC), Isaac Ngobya (Bell), aba Express okuli Kennedy Lubogo,...

Kamaanyi eyatolosa Ssekabak...

Dan Kamaanyi, eyatolosa ssekabaka Muteesa II ekibabu kya Milton Obote eyalumba olubiri mu 1966 ng'ayagala okumutta,...

Muyigire ku bajulizi abakki...

MUK'OMULABIRIZI wa West Buganda Can.Elizabeth Julia Tamale y'ayigirizza mu kusaba okw'okujjukira abajulizi ba...