TOP

Eyagobwa mu Leicester alumbye Vardy

Added 11th December 2019

Claude Puel, eyagobwa ku butendesi bwa Leicester City mu February, alumbye omuteebi Jamie Vardy nti muzannyi mulungi naye ebiseera ebisinga yeeyisa ng’omwana omuto.

Vardy y'akulembedde abateebi ba Premier ne ggoolo 14 kyokka Puel agamba nti yalemwa okutegeera enneeyisa ye kuba yeeyisa ng'omwana omuto.

Omufalansa Puel ayongerako nti obutakusula Lungereza nakyo kyamukosa nnyo ku Leicester kuba pulaani ze nnyingi zaalemwa okutegeerwa abazannyi ttiimu n'etekola bulungi.

Abawagizi ba Leicester baanenya nnyo Puel olw'okutuuzanga Vardy kyokka ye yeewolereza nti Vardy yali akaddiye ng'azannyisa Demarai Gray omuto, ebiseera bya Leicester eby'omu maaso bitangaale.

Yagasseeko nti Leicester wadde yamugoba naye agyagaliza birungi byereere. Leicester yaakubiri mu Premier ng'erina obubonero 35 mu mipiira 15. Liverpool eri ku ntikko erina 46 mu mipiira 16. Leero Leicester ekyalira Aston Villa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Embiranye ku kifo ky'obwap...

OKUNOONYEREZA okukoleddwa Vision Group kuzudde nti okuvuganya mu bitundu bya Uganda kusinga mu Buganda, wakati...

Hosyn Kiiza oluusi eyeeyita Farouk asindikiddwa mu kkomera e Kitalya

Farouk bba wa Julie Underwo...

BBA wa munnakatemba Julie Underwood azannya nga Sharon mu ba Ebonies, Hosyn Kiiza oluusi eyeeyita Farouk asindikiddwa...

Isima Mutagaya

Owa Mobile Money asindikidd...

KKOOTI ya Buganda Road esindise omukozi wa Mobile money mu kkomera e Kitalya nga kigambibwa nti yabba ssente obukadde...

Kasasa

Kkooti egobye okusaba kw'ab...

KKOOTI Enkulu ey’ebyettaka egobye okusaba kw’abaana ba Sekabaka Muteesa mwe babadde baagalira okubakkiriza okujulira...

Pte Asiimwe (ku kkono), Pte Mugabi, 2Lt Kasmula ne 2Lt Ankunda mu kaguli ka kkooti gye baavunaaniddwa n’abaserikale ba poliisi e Makindye.

Boofiisa basimbiddwa mu kko...

BOOFIISA ba poliisi basimbiddwa mu kkooti y’amagye ne bavunaanibwa okusomola ebyama bya Gavumenti ne babigabira...