TOP

Ekyamazima ManU yatusinze eddiba - Guardiola

Added 11th December 2019

Pep Guardiola, atendeka Man City akkirizza nga ManU bwe yasinze ttiimu ye okuzannya obulungi ku Lwomukaaga n’anokolayo Marcus Rashford ne Anthony Martial nti baasukkiridde nnyo abazibizi be.

 Guardiola

Guardiola

MAN UTD YATUSINSE - GUARDIOLA

Man City 1-2 ManU

ManU yawangudde (2-1) mu mupiira abatunuulizi gwe baagambye nti gwawadde Liverpool ekikopo kya Premier. Liverpool erina obubonero 46 ate Man City 32 mu mipiira 16.

Rashford ne Martial be baateebedde ManU ate Nicolas Otamendi n'awonya bannyinimu okuvaayo engalo ensa.

"Tujja kuzannya emipiira gyonna nga tetulowooza ku muwendo gwa bubonero Liverpool bw'etusinza. Twatuuse mu bookisi ya ManU emirundi mingi naye ne tulemwa okuteeba kyokka twazannye bulungi," Guardiola bwe yategeezezza ng'omupiira guno gwe baakyazizza guwedde.

Wabula yagasseeko nti, "ManU erina abazannyi aba sipiidi nga Rashford ne Martial. Olumu osobola okubakuuma ate oluusi bakulema. Leero batulemeredde. Enzannya yaffe ya kunyigiriza mulabe nga twerinda okutuzinduukiriza naye ManU etusobodde olw'abazannyi abalungi b'erina."

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fred Enanga

Ettemu n'okusobya ku baana ...

EBIKOLWA by’ettemu n’okusobya ku baana bikudde ejjembe mu biseera by’okwekuuma obulwadde bwa ssenyiga era poliisi...

Police FC eyongedde okwenyweza

MU KAWEEFUBE wa Police FC ezannyira mu Star times Uganda Premier League okwetegekera sizoni ejja 2020/2021, basonjodde...

Nakaayi ng'ali mu nsiike ne Nannyondo

Nakaayi yeebugira mpaka z'e...

MUNNAYUGANDA omuddusi Halima Nakaayi ali ku ssaala okulaba ng’emisinde gya ‘Diamond League’ gibeerawo mu kibuga...

Minista Haruna Kasolo ng'asomesa ku kwekulaakulanya n'enkozesa y'ensimbi za MYOOGA

Abatuuze b'ekira basomesedd...

MINISITA omubeezi akola kunsonga z'ebibiina byobwegassi Kyeyune Haruna Kasolo, akubiriza abantu okwebereramu nga...

Aba Twaweza bafulumizza ali...

KUNOONYEREZA kuzudde nti ab’enganda okusaba abantu babwe sente okubayambako okuvvuunuka embeera kifuuse kyabulijjo...