TOP

Anthony Joshua addamu kuzannyira ku butaka

Added 11th December 2019

Kyampiyoni w’ensi yonna ow’ebikonde mu buzito bwa babinywera ow’ekibiina kya WBA, Anthony Joshua akkirizza okuddamu okulwana nga May w’omwaka ogujja tannayita.

 Joshua ne Ruiz nga bali mu nsiike

Joshua ne Ruiz nga bali mu nsiike

Omungereza ono waakuzannyira mu kisaawe ekipya ekya Tottenham (Spurs) e London ekya Bungereza nga waakuttunka ne Kubrat Pulev oba Oleksandr Usyk abagenda okukubagana nga February tannaggwaako.

Joshua yamezze Andy Ruiz Jr, enzaalwa y'e Mexico mu bikonde by'okudding'ana ebyabadde e Saudi Arabia ku Lwomukaaga ekiro.

Joshua yafunye pawundi obukadde 85 ate Ruiz Jr 13.

Singa Joshua awangula olulwana lw'omu May, waakugwisa bwenyi n'omuwanguzi wakati w'Omungereza Tyson Fury, n'Omumerika Deontay Wilder, nabo abategeka okudding'ana omwaka ogujja.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mwanje (wakati) nga "bamunywedde"

Ofiisa munsonyiwe nva kuziika!

MAKANIKA eyeeyise owa poliisi bamukutte n’alwanagana n’abaserikale ng’agamba nti tebalina kye bayinza ku mukola....

Abawawaabirwa, Christine Guwatudde Kintu, Joel Wajala , John Martin Owor  ne Lutimba Kyeyune Fred Martin nga bali mu kaguli

Bana basimbiddwa mu kkooti ...

Abakungu bana okuva mu ofiisi ya Ssaabaminisita abavunaanibwa okulya eza COVID19 basindikiddwa mu kkooti ewozesa...

Sazir Lumala disitulikiti Kaadi w'e Mukono ng'ayogera n'abamawulire ku poliisi e Mukono.

Disitulikiti Kaadi w'e Muko...

Bya ERIC YIGA POLIISI e Mukono ekutte disitulikiti Kaadi waayo Sheikh Sazir Lumala naggulwako omusango gw'okukozesa...

Abasiraamu balabuddwa okuko...

BYA JAMES  MAGALA  Kino kidiridde Poliisi okuyoola abasiraamu 25 e Mpingi nga bagambibwa okuba abayeekera mu...

Bagudde ku mulambo gwa mutu...

Abatuuze b'e Kawaala zooni 2 mu divizoni y'e Rubaga baguddemu ekyekango bwe basanze mutuuze munnaabwe nga yafiridde...