TOP
  • Home
  • Akadirisa
  • Tewali agenda kulemesa Liverpool kuwangula Premier sizoni eno - Benitez

Tewali agenda kulemesa Liverpool kuwangula Premier sizoni eno - Benitez

Added 11th December 2019

Eyaliko omutendesi wa Liverpool, Rafa Benitez agambye nti tewali ayinza kulemesa ttiimu eno kuwangula Premier sizoni eno.

 Rafa Benitez eyatendekako Liverpool

Rafa Benitez eyatendekako Liverpool

Eyaliko omutendesi wa Liverpool, Rafa Benitez agambye nti tewali ayinza kulemesa ttiimu eno kuwangula Premier sizoni eno.

"Ekikwa ky'emyaka 30 ku luno bagenda kukyeyambula. Ensonga ey'amaanyi eri ku bagagga ba ttiimu kukkiriza kuta ssente ne bagula abazannyi abalungi mu buli kitongole," Benitez bwe yategeezezza.

Liverpool yasemba okuwangula ekikopo kya liigi y'e Bungereza mu 1990 era Benitez agamba nti, "Tebagenda kukitwala lwa kisenge kigumu, baagula abazannyi abalungi ne babatobeka mu buli kitongole. Ggoolokipa, abazibizi aba wakati n'ebbali, abawuwuttanyi n'abateebi bonna balungi."

Benitez, enzaalwa y'e Spain, yawangulira Liverpool ekikopo kya Champions League mu 2005 wabula ekya Premier kyamulema. Liverpool kati etendekebwa Jurgen Klopp ng'eri ku ntikko ya Premier n'obubonero 46 ate Leicester 38 ne Man City 32 mu mipiira 16.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ebiragiro by'akakiiko k'ama...

EBIRAGIRO by'akakiiko k'amasaza bitemyemu abaddukanya ttiimu ezenjawulo ng'abamu babiwagira ,ate ng'abalala bawera...

Aba akeedi bawanjagidde Gav...

ABAKULEMBEZE ba KACITA balabudde nti bavudde ku nkola y'akakiiko akassibwaawo okulambula akeedi mu Kampala okukakasa...

Dr. Emmanuel Diini Kisembo eyaloopa omusango gw'ebyokulonda

Omusango ogwawaabirwa akaki...

KKOOTI enkulu etuula ku Kizimbe kya Twed Towers mu Kampala etandise okuwulira omusango ogwawaabirwa akakiiko k'ebyokulonda...

Omubaka Kato ekyenda bakizz...

OMUBAKA Kato Lubwama owa Lubaga South asulirira kusiibulwa oluvanyuma lw’ekyenda ekibadde kikuumirwa ebweru w’olubuto...

Kajoba azzeemu okukwatagana...

Ku wiikendi Vipers SC yawadde omutendesi Kiwanuka endagaano ya myaka ebiri okumyuka omutendesi Fred Kajoba ng’ono...