TOP

Ole Gunnar Solskjaer aliisa buti

Added 11th December 2019

Obuwanguzi obuddiring’ana ku Spurs (2-1) ne Man City (2-1) bucamudde abagagga ba ManU ne bakakasa omutendesi Ole Gunnar Solskjaer nti omulimu gugwe bwoya bagenda na kumupokera omusimbi agule bassita abalala ttiimu eggumire.

 Ole Gunnar Solskjaer

Ole Gunnar Solskjaer

Solskjaer abadde asulirira kugobwa oluvannyuma lw'okulemwa okuwangula ku mipiira 2 egiddiring'ana sizoni eno.

Wabula yakubye Spurs ku Lwokusatu lwa wiiki ewedde ne kyampiyoni Man City ku Ssande, n'akomyawo essuubi lyayo okumalira mu ‘Top 4'.

Abagagga Joel Glazer ne Avram Glazer, bagambibwa nti baasisinkanye Solskjaer ku Mmande ne bamukakasa nti y'asobola okutwala ttiimu mu maaso ne bamusaba atandike n'okunoonya abazannyi abayinza okumwongerako.

Solskjaer, enzaalwa y'e Norway, yayongedde amaanyi mu kuperereza munnansi munne, omuteebi Erling Braut Haaland owa Salzburg sso nga era ayagala kukansa muwuwuttanyi Saul Niguez okuva mu Atletico Madrid eya Spain.

ManU eri mu kyakutaano mu Premier ku bubonero 24 mu mipiira 16. Chelsea eyookuna erina 29 mu mipiira gye gimu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kabaka tebagenda kumukongoj...

KABAKA Mutebi II si wakukongojjebwa ng’Obuganda bukuza amatikkira ge ag’omulundi ogwa 27 olw’okutya okusasanya...

Ow'emifumbi eyagobeddwa mu ...

OMUZANNYI w’emifumbi Geoffrey Lubega eyagobeddwa mu nyumba olw’okulemererwa okusasula ensimbi z’obupangisa adduukiriddwa....

Empaka za FEASSSA zisaziddw...

OMUKISA gwa Uganda okulwanirira okweddiza ekikopo ky’emizannyo gy’amasomero ga ssiniya ag’obuvanjuba bw’Afrika...

Nankabirwa ng'asanyusa bato banne

Omuyimbi muzibe asaba kuvuj...

BYA SOPHIE NALULE Angel Nankabirwa ow'emyaka 12 bw'omuwulira ng'ayimba ku muzindaalo odduka mbiro otere esange...

Kabineeti eteesezza okuggul...

KABINEETI eggulo yateesezza ku kuggulawo akeedi n’ebirina okussibwa mu nkola nga ziggulwawo.