TOP

Napoli efuumudde Ancelotti

Added 11th December 2019

Nga bakyali mu ssanyu ly’okutimpula Genk eya Belgium ne batuuka ku luzannya lwa ttiimu 16 olwa Champions League, abazannyi n’abawagizi ba Napoli kyababuuseeko okuwulira nti omutendesi Carlo Ancelotti abatuusizza ku kkula eryo, agobeddwa.

Nga bakyali mu ssanyu ly'okutimpula Genk eya Belgium ne batuuka ku luzannya lwa ttiimu 16 olwa Champions League, abazannyi n'abawagizi ba Napoli kyababuuseeko okuwulira nti omutendesi Carlo Ancelotti abatuusizza ku kkula eryo, agobeddwa.

Carlo Ancelotti ye yafuumuddwa oluvannyuma lwa wiiki ezisoba mu nnya ng'agugulana ne nnannyini ttiimu eno, Aurelio De Laurentilis wamu n'abamu ku bassita baayo.

Napoli yawuttudde Genk (4-0) ku butaka n'ekulembera ekirimu Liverpool ne Salzburg kyokka nnaggagga Laurentilis tekyamulobedde kukwata kyambe.

Kino kiddiridde Napoli okumala emipiira 9 nga tewangula mu liigi ya Yitale (Serie A) kyokka nga bino byonna bikulemberwa obutakkaanya obwaliwo wakati wa Ancelotti n'omugagga oluvannyuma lwa Napoli okulemagana ne Genk mu Belgium.

Omugagga yayita ttiimu yonna mu lusirika, bassita abasinga ne bakiwakanya ne Ancelotti n'abeeyungako, ekyanyiiza Laurentilis ne boodi yonna nti kwali kuyisa maaso mu mugagga.

Ancelotti yatendekako Chelsea, AC Milan, Bayern ne Real Madrid era kigambibwa nti Gennaro Gattuso, eyali ssita we nga bakukumba ebikopo mu AC Milan, y'ateekateeka okumusikira.

Olwawulidde amawulire g'okugobwa mu Napoli, Arsenal ne Everton ne zizina gunteese nga zaagala kumuperereza azitendeke.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ebiragiro by'akakiiko k'ama...

EBIRAGIRO by'akakiiko k'amasaza bitemyemu abaddukanya ttiimu ezenjawulo ng'abamu babiwagira ,ate ng'abalala bawera...

Aba akeedi bawanjagidde Gav...

ABAKULEMBEZE ba KACITA balabudde nti bavudde ku nkola y'akakiiko akassibwaawo okulambula akeedi mu Kampala okukakasa...

Dr. Emmanuel Diini Kisembo eyaloopa omusango gw'ebyokulonda

Omusango ogwawaabirwa akaki...

KKOOTI enkulu etuula ku Kizimbe kya Twed Towers mu Kampala etandise okuwulira omusango ogwawaabirwa akakiiko k'ebyokulonda...

Omubaka Kato ekyenda bakizz...

OMUBAKA Kato Lubwama owa Lubaga South asulirira kusiibulwa oluvanyuma lw’ekyenda ekibadde kikuumirwa ebweru w’olubuto...

Kajoba azzeemu okukwatagana...

Ku wiikendi Vipers SC yawadde omutendesi Kiwanuka endagaano ya myaka ebiri okumyuka omutendesi Fred Kajoba ng’ono...