TOP

Pogba assuuse n'awa Solskjaer amaanyi

Added 11th December 2019

Pogba asubiddwa emipiira gya ManU 15 olw'obuvune.

Paul Pogba omuwuwuttanyi wa ManU.

Paul Pogba omuwuwuttanyi wa ManU.

Abawagizi ba ManU bafunye akaseko ku matama oluvannyuma lwa ssita waabwe Paul Pogba okussuuka obuvune obubadde bumusumbuwa.

Omufalansa Pogba, yazzeemu okutendekebwa oluvannyuma lw'okumala ebbanga ng'ali ku ndiri.

Kyabadde kisuubirwa nti Pogba agenda kuzannya omupiira gwa leero nga ManU ettunka ne AZ Alkmaar, kyokka Solskjaer yategeezezza nti tannatuusa kuzannya.

ManU eri ku lutabaalo lwa kumalira mu bana abasooka oluvannyuma lw'okuwangula emipiira ebiri egiddiring'ana.

Baakubye Man City ggoolo 2-1 sso nga baasoose kukuba Spurs ku ggoolo ze zimu.

Solskjaer yategeezezza abaamawulire nti wadde nga Pogba tagenda kuzannya mupiira gwa leero, emipiira gy'eggandaalo lya Ssekukkulu we ginaatuukira ng'omuzannyi ono ajja kuba assuukidde ddala ng'asobola okuzannya emipiira gya Premier.

ManU eri mu kyakutaano ku bubonero 24 mu mipiira 16 nga ku Ssande, yaakwambalagana ne Everton omupiira gwe yeetaaga okuwangula okwongera amaanyi mu kaweefube waabwe okumalira mu bana.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omuyimbi Pia Pounds yeekokk...

Sheilah Gashumba kirabika kati ye yeekwatiramu mu kukuba ebifaananyi

Malokwezza ne mukazi nga bajaganya

Tofiri Malokweza (92): Ayog...

Bw’OLABA omuntu ow’emyaka 92 tolemwa kutendereza Katonda ate ng’eno bwe weebuuza ekyama kye ekimusobozesezza okuwangaala....

Ziza Bafana

Ziza Bafana akubye oluyimba...

OMUYIMBI Ziza Bafana akaaba lwa bizibu na mabanja ge yaguddemu oluvannyuma lw’okumukwata ng’ava okuyimba e Tanzania....

Eyamezze abawanvu mu kamyuf...

OMUYIMBI Ziza Bafana akaaba lwa bizibu na mabanja ge yaguddemu oluvannyuma lw’okumukwata ng’ava okuyimba e Tanzania....

Eyamezze abawanvu mu kamyuf...

MARTIN Dorcus Mbabazi agamba nti ababadde bamuyita ekidomola oba ekikere olw’enkula ye kye kiseera bategeere amaanyi...