TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Lampard ayagala kukansa Wilfried Zaha aggumize ttiimu ye

Lampard ayagala kukansa Wilfried Zaha aggumize ttiimu ye

Added 11th December 2019

Zaha yayagala dda okwabulira Crystal Palace kyokka bakama be ne bamulemesa okugenda mu Arsenal.

 Zaha owa Crystal Palace ng'ali wansi oluvannyuma lw'okumukuba endobo.

Zaha owa Crystal Palace ng'ali wansi oluvannyuma lw'okumukuba endobo.

OMUTENDESI wa Chelsea, Frank Lampard agambye nti bagenda kugezaako okwongera amaanyi mu ttiimu nga bagulayo abazannyi abasobola okulumba.

Lampard, eyatuusizza Chelsea ku luzannya lwa ttiimu 16 mu Champions League, agamba nti ayagala kwongera maanyi mu lugoba oluteebi basobole okuwangula ebikopo.

Lampard, atunuulidde ssita wa Crystal Palace, Wilfried Zaha gw'agamba nti bw'anaamufuna, ajja kuba azibye eddibu lya Eden Hazard gwe baatuna mu Real.

Zaha, yategeeza bakama be nti ayagala kwegatta ku ttiimu ndala kyokka ne bamulemesa mu katale k'abazannyi akasembyeyo Arsenal bwe yali eyagala okumukansa.

 aha ku kkono ate ku ddyo ye ampard omutendesi wa helsea Zaha (ku kkono) ate ku ddyo ye Lampard omutendesi wa Chelsea.

 

Chelsea yeesozze oluzannya lwa ttiimu 16 mu za Bulaaya kyokka Lampard agamba nti omutendera gwe baddako gusuubirwa okuba omuzibu kuba guliko ttiimu ennene okuli; Barcelona, Real Madrid, PSG, Bayern Munich n'endala ezirina ebyoto ebyogi.

Bali mu kifo kyakuna mu Premier nga mu miipiira 16, balina obubonero 29.

Baakuttunka ne Bournemouth ku Lwomukaaga nga baagala kuguwangula okwongera okunyweza ekifo kyabwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kizza Senninde

Bba wa minisita Rosemary Se...

ZEFANIYA Kizza Senninde nga ye bba wa minisita omubeezi ow'ebyenjgiriza ebisookerwako, Rose Nansubuga Senninde...

Abamu ku baagala okufuna tikiti nga balwanira ku kitebe kya NUP.

Aba Bobi Wine bayomba lwa l...

OLUTALO luzzeemu ku kitebe ky’ekibiina kya Bobi Wine ekya National Unity Platform e Kamwokya nga luva ku lukalala...

Liverpool eyagala Mbappe

OKUZIMBA ttiimu ejojobya Bulaaya, omu- tendesi wa Liverpool, Jurgen Klopp abikwasizza maanyi.

Bashemera n’abaana be. Okuloota ng’ofunye omulimu mu nsi z’ebweru n’ogugaana kitegeeza ki? Nze Gift J e Makerere. Kikulabula obutalowoolereza mu bintu ebiri

Muggya wange yatta bbaffe n...

OKUFA kwa baze kwankuba wala katono ngwe n’eddalu. Abasawo baakola kya maanyi okumbudaabuda n’okunzizaamu essuubi...

Bobi Wine (wakati) lwe yali ne Latif Ssebaggaka (ku kkono) ne Chameleone (ku ddyo).

Kitegeeza ki Latif okuva mu...

LATIF Ssebaggala okuva ku kuvuganya ku kifo kya Loodi Meeya kiddiridde enteeseganya z’abavuganya Gavumenti ne bakkaanya...