TOP
  • Home
  • Ebirala
  • JKL Dolphins yeddiza ekikopo kya basketball mu bakazi

JKL Dolphins yeddiza ekikopo kya basketball mu bakazi

By

Added 13th December 2019

Ttiimu zino zisiitaanye mu nzannya musanvu era zaatuuse ekiseera ne zisibagana okutuusa ku ddakiika ezisembayo JKL Dolphins bwe yatutte.

Abazannyi ba  JKL Dolphins nga bajaganyiza ekikopo.

Abazannyi ba JKL Dolphins nga bajaganyiza ekikopo.

Fayinolo ya basketball
UCU Lady Canons 55-62 JKL Dolphins(3-4)

JKL Lady Dolphins ezzeemu okulaga eryanyi mu liigi y'eggwanga eya
basketball bw'ekubye UCU Lady Canons ku nzannya 4-3 ku fayinolo ne
yeddiza ekikopo ky'omwaka guno.

Ku Lwokusatu, obunkenke bwabuutikidde MTN Arena nga ttiimu zombi tewali
eyagala kulekera ginnaayo, JKL yakulembedde ebitundu by'omuzannyo
ebisatu ebyasoose wabula nga UCU tegikkiriza kugikulembera na bubonero
bungi (16-11,11-11,17-15).

Ekitundu ekyokuna, UCU Lady Canons yeerwanyeeko n'ekiwangula
n'obubonero 15-8 ekyatadde omuzannyo mu maliri ga bubonero 52-52.

Ddiifiri yawaliriziddwa okwongeramu eddakiika ttaano ezisalawo
omuwanguzi, JKL n'esinza ensumika n'obubonero 62-55.

Flavia Aketcho kapiteeni wa JKL Dolphins agamba nti ekikopo baakiggye
mu mannyo ga mpisi, kuba okuva lwe baatandika oluzannya olusooka okutuuka
ku lwomusanvu obunkenke bubadde bungi naye Katonda atuwadde obuwanguzi.

"Ddala eno ebadde fayinolo, okuzannya enzannya zonna musanvu,
ne tutuuka n'okusibagana, amazima abadde Katonda ffe okuwangula,
tukoledde wamu era nneebaza bazannyi bannange na buli muntu yenna
abaddewo ku lwaffe," Aketcho bwe yagambye.

Sarah Ageno kapiteeni wa UCU Lady Canons agamba baakoze kyonna
ekisoboka wabula omukisa tegwabadde ku ludda lwabwe naye tebaweddeemu
maany. Omwaka ogujja bakomawo.

"Ekikopo kigaanyi naye nga tulwanye, tugenda kwetereeza omwaka ogujja
tukole ekisinga ku kye tukoze omwaka guno," Ageno bwe yagumizza.

Hope Akello owa JKL ye yabadde omuzannyo w'olunaku n'aweebwa emitwalo
10.

JKL Lady Dolphins kino kikopo kyakubiri, ate UCU ebadde enoonya kyamwenda.

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulimu gw'okuddaabiriza Nk...

Abaasomerako ku ssomero lya Nkumba P/S bayingidde omutendera ogw'okusatu mu kuddaabiriza ebizimbe ku ssomero lino...

UGANDA EKWATA KISOOKA MU AF...

OMUWANDIISI w'enkalakkkalira mu minisitule y'ebyobulamu Dr Diana Atwine abugaanye essanyu oluvanyuma lw'okufuna...

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu