TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Liverpool ekansizza Omujapan n'eyongera okwenyweza

Liverpool ekansizza Omujapan n'eyongera okwenyweza

Added 13th December 2019

Liverpool ekulembedde liigi ya Premier era eyagala kugiwangula egatteko n'ekya Bulaaya.

 Minamino ng'asanyukira ggoolo gye yateebyera Salzburg. Liverpool egambibwa okuba nti yamusonjodde.

Minamino ng'asanyukira ggoolo gye yateebyera Salzburg. Liverpool egambibwa okuba nti yamusonjodde.

LIVERPOOL esonjodde omuwuwuttanyi Omujapan Takumi Minamino.

Omuzannyi ono ow'emyaka 24, baamukansizza mu Red Bull Salzburg gye baabadde nayo mu kibinja kya Champions League sizoni eno kyokka yo n'eremwa okuyitamu.

Omuzannyi ono ayogerwako nti y'omu ku basinga ekitone mu Bulaaya, ttiimu nnyingi zibadde zimwegwanyiza okuli; Monchengladbach eya Girimaani, ManU AC Milan n'endala nnyingi.

ManU ye yasooka okuperereza omuzannyi ono gwe baali baagala okuleeta ayambeko mu kuyiiyiza ttiimu singa balemwa okukans James Maddison owa Leicester.

Obukadde bwa pawundi 7.75 ze baamuguze zigambibwa okubeera entono ennyo olw'omupiira gw'azannya.

Bamutokotedde wiiki mukaaga okutuusa lwe baamusonjodde. Mu wiiki ezijja, omuzannyi ono asuubirwa okujja ku Anfield agezesebwe abasawo oluvannyuma atandike okubazannyira mu January.

Yaakateebera Japan ggoolo 11 mu mipiira 22 sso nga mu kampeyini y'okusunsulamu abalizannya World Cup ya 2022 e Qatar, yaakabateebera ggoolo nnya mu mipiira etaano.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulimu gw'okuzimba ekisaawe kya Nakivubo guzzeemu okutojjera

Speaker Kadaga asanyukidde ...

OLUVANNYUMA lwa Pulezidenti Museveni okugya envumbo ku by’emizannyo olw’ekirwadde kya CORONA, okuzimba ekisaawe...

Abasuubuzi nga balaga sipiika bye batunda

Speaker asisinkanye abasuub...

SIPPIKA  wa palamenti  Rebeeca Alitwala Kadaga asabye abakungu b'ekitongole ky'omusolo URA okukomya okunyigiriza...

Nambooze ng'ayogera eri abavubuka ba People Power e Mukono ku NUP.

Nambooze yeekokkodde abamwe...

Nambooze yeegobyeko abamwekukuutirizaako mu kalulu olumala ne bajeema.

Engeri gy'ofuna mu nkoko z'...

ENKOKO z’amagi zirimu ssente mu kiseera kino, naddala ng’ozirabiridde obulungi ne zitandikira mu budde obutuufu...

Hajji Musa ng'annyonnyola

Enkoko z'ennyama 100, zikuk...

NGA buli omu asala entotto ku ngeri gy'asobola okuyingiza akasente mu nsawo okuyita mu mbeera y'ekirwadde kya Corona,...