TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Klopp atadde omukono ku ndagaano empya mu Liverpool

Klopp atadde omukono ku ndagaano empya mu Liverpool

Added 13th December 2019

Klopp yeegatta ku Liverpool mu October wa 2015 ng'asikira Brendan Rodgers gwe baali bafuumudde.

 Jurgen Klopp omutendesi wa Liverpool.

Jurgen Klopp omutendesi wa Liverpool.

OMUTENDESI wa Liverpool, Jurgen Klopp atadde omukono ku ndagaano empya egenda okumukuumira mu ttiimu eyo okutuuka mu 2024.

Klopp, eno egenda kuba ttiimu gy'agenda okuba ng'asinze okulwamu mu byafaayo bye ng'omutendesi.

Mu bubaka bwa vidiyo bwe yatadde mu mukutu gwa ‘twitter', Klopp yagambye nga bw'ali omusanyufu okugenda mu maaso ng'atendeka ttiimu eno n'akudaalira abatamwagaliza Liverpool nti banuune ku vvu.

Omugirimaani ono yawangulidde Liverpool ekikopo kya Bulaaya sizoni ewedde kye yali yasemba okukwatako mu 2005.

Mu kiseera kino Liverpool y'eri ku ntikko ya Premier nga mu mupiira 16, yaakasuula obubonero bubiri bwokka. Basinga Leicester eri mu kyokubiri obubonero munaana.

Klopp yasuubizza abawagizi ba ttiimu eyo ebikopo ebirala bingi okutandikira ku kya Premier sizoni eno.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Trump ne Biden

Omugagga asasulidde abasibe...

OMUSAJJA bifeekeera, omu ku basinga obugagga mu Amerika akutte doola obukadde 16 n’asasulira abasibe 32,000 engassi...

Omuyimbi Pia Pounds yeekokk...

Sheilah Gashumba kirabika kati ye yeekwatiramu mu kukuba ebifaananyi

Malokwezza ne mukazi nga bajaganya

Tofiri Malokweza (92): Ayog...

Bw’OLABA omuntu ow’emyaka 92 tolemwa kutendereza Katonda ate ng’eno bwe weebuuza ekyama kye ekimusobozesezza okuwangaala....

Ziza Bafana

Ziza Bafana akubye oluyimba...

OMUYIMBI Ziza Bafana akaaba lwa bizibu na mabanja ge yaguddemu oluvannyuma lw’okumukwata ng’ava okuyimba e Tanzania....

Eyamezze abawanvu mu kamyuf...

OMUYIMBI Ziza Bafana akaaba lwa bizibu na mabanja ge yaguddemu oluvannyuma lw’okumukwata ng’ava okuyimba e Tanzania....