TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Arsenal esabye Wolves olukusa eyogere n'omutendesi waayo

Arsenal esabye Wolves olukusa eyogere n'omutendesi waayo

Added 15th December 2019

Nuno Espirito yatendekako Valencia eya Spain, FC Porto ne Rio Ave ez'e Portugal nga tanneegatta ku Wolves.

 Omutendesi wa Wolves, Nuno Espirito Santo y'omu ku batunuuliddwa okutendeka Arsenal.

Omutendesi wa Wolves, Nuno Espirito Santo y'omu ku batunuuliddwa okutendeka Arsenal.

ABAKUNGU ba Arsenal bategese okusisinkana omutendesi wa Wolves, Nuno Espirito Santo batunule mu mpapula ze balabe oba asobola okutendeka ttiimu yaabwe.

Arsenal eri ku muyiggo gwa mutendesi wa nkalakkalira anaasikira Unai Emery eyagobwa ku nkomerero y'omwezi oguwedde.

Kyategeezeddwa nti abali ku muyiggo gw'omutendesi wa Arsenal omuggya baawandiikidde Wolves nga bagisaba olukusa olwogerezeganya n'omutendesi waayo.

Nuno Espirito, yayamba Wolves okumalira mu kyomusanvu sizoni ewedde sso nga mw'eno, akyagikuumidde ku mwanjo era ekyalina n'essuubi ly'okumalira mu bifo ebina ebisooka.

Wolves, y'emu ku ttiimu za Bungereza eziri mu Europa ezeesozze oluzannya lwa ttiimu 16 era enkya ku Mmande, zirinze kalulu okumanya ttiimu ze zinaazannya.

Oluvannyuma lw'okugoba Emery, abakungu ba ttiimu abakulirwa eyali ssita waabwe Edu, baalina ekirowoozo ekireka Freddie Ljungberg amaleko sizoni kyokka omutindo ogw'ekibogwe ttiimu gw'eyolesa, guviiriddeko okunoonya omutendesi ow'enkalakkalira mu bwangu.

Arsenal leero ettunka ne Man City mu Premier omupiira gw'erina okuwangula okutangaaza emikisa egimalira mu bifo by'oku mwanjo sizoni eno.

Kigambibwa nti olukalala lw'abatandesi 12 lwe luli mu kutunuulirwa abakungu ba Arsenal basobole okulondako omutendesi.

Ku bano kuliko; Maxi Allegri, Mikel Arteta, Mauricio Pochettino, Carlo Ancelotti, Diego Simeone, Nuno Espirito n'abalala.

Arsenal eri mu kyamwenda mu Premier nga mu mipiira 16 erinamu obubonero 22.  

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...

Lubega

Ebikonde sibyevuma - Lubega

OMUGGUNZI w'ehhuumi, Joey Vegas Lubega annyuse ebikonde oluvannyuma lw'emyaka 23 bukya alinnya kigere kye ekisooka...

Donald Trump

Trump alemeddeko ku by'akal...

EBY’AKALULU ka ssaayansi byongedde Donald Trump n’ategeeza nga bw’ali omusajja omukulu atayinza kukkiriza kuleka...

Paapa eyawummula Joseph Aloisius Ratzinger

Paapa Joseph Aloisius Ratzi...

PAAPA Benedict XVI eyawummula ng’amannya ge ag’obuzaale ye Joseph Aloisius Ratzinger muyi. Ratzinger 93 obulwadde...

Abaabadde balambula ppaaka ekolebwa.

Abakola ppaaka enkadde bale...

Bakansala ba KCCA abatuula ku kakiiko akateekerateekera ekibuga n’okuzimba nga bali wamu n’abakugu baalambudde...