TOP
  • Home
  • Mupiira
  • ManU etunuulidde musaayimuto wa Parma mu katale ka January

ManU etunuulidde musaayimuto wa Parma mu katale ka January

Added 15th December 2019

ManU ekyayigga bazannyi banaagizza ku maapu sizoni ejja. Mu kiseera kino eri mu kyamukaaga ku bubonero 24.

 Dejan Kulusevski, omuwuwuttanyi wa Parma, ManU gw'eperereza.

Dejan Kulusevski, omuwuwuttanyi wa Parma, ManU gw'eperereza.

NG'AKATALE k'abazannyi mu Bulaaya kabulako mbale kaggulewo, omutendesi wa ManU, Ole Gunnar Solskjaer alagidde basajja be abamunoonyeza abazannyi baddemu beetegereze musaayimuto wa Parma, Dejan Kulusevski.

Omuzannyi ono nzaalwa y'e Sweden ng'azannya ku wingi zombie era Solskjaer omutindo gwe gumaze ebbanga nga gumucamula kwe yavudde okumutokota.

ManU eri ku muyiggo gw'abazannyi abasobola okuzannya omupiira ogw'okulumba er Kulusevski, 19, ali ku bbanja okuva, mu Atalanta eya Yitale, y'omu ku be bayinza okugula.

Nga bawangula Napoli ggoolo 2-1, Kulusevski, yateebye ggoolo esooka sso nga ye yateereddewo Gervinho ggoolo ey'obuwanguzi mu ddakiika ezisembayo.

Omuwuwuttanyi ono yaakateeba ggoolo nnya sizoni eno era abalirirwamu obukadde bwa pawundi 25.

Kigambibwa nti omuzannyi ono ne Inter Milan emwagala era bategese okwesogga enteeseganya mu katale ka January bamugule ekitegeeza nti ManU erina okwanguwa okumukansa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...

Lubega

Ebikonde sibyevuma - Lubega

OMUGGUNZI w'ehhuumi, Joey Vegas Lubega annyuse ebikonde oluvannyuma lw'emyaka 23 bukya alinnya kigere kye ekisooka...

Donald Trump

Trump alemeddeko ku by'akal...

EBY’AKALULU ka ssaayansi byongedde Donald Trump n’ategeeza nga bw’ali omusajja omukulu atayinza kukkiriza kuleka...

Paapa eyawummula Joseph Aloisius Ratzinger

Paapa Joseph Aloisius Ratzi...

PAAPA Benedict XVI eyawummula ng’amannya ge ag’obuzaale ye Joseph Aloisius Ratzinger muyi. Ratzinger 93 obulwadde...

Abaabadde balambula ppaaka ekolebwa.

Abakola ppaaka enkadde bale...

Bakansala ba KCCA abatuula ku kakiiko akateekerateekera ekibuga n’okuzimba nga bali wamu n’abakugu baalambudde...