TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Tetujja kulemesa Arteta kwegatta ku ttiimu emwagala - Guardiola

Tetujja kulemesa Arteta kwegatta ku ttiimu emwagala - Guardiola

Added 16th December 2019

Arsenal eri ku muyiggo gwa mutendesi muggya anaasikira Unai Emery eyagobwa ku nkomerero ya November.

 Arteta (ku kkono) ne mukama we Guardiola ku mupiira mwe baawangulidde Arsenal.

Arteta (ku kkono) ne mukama we Guardiola ku mupiira mwe baawangulidde Arsenal.

OMUTENDESI wa Man City, Pep Guardiola agambye nti tagenda kwekiika mu kkubo lya mumyuka we, Mikel Arteta singa anaasaba okugenda mu ttiimu endala.

Arteta, eyaliko kapiteeni wa Arsenal y'omu ku baasongeddwaamu olunwe okulya obutendesi bwa Arsenal obw'enkalakkalira ng'adda mu bigere bya Unai Emery eyagobwa gye buvuddeko.

Ng'ayogerako n'abaamawulire oluvannyuma lwa Man City okuwangula Arsenal ggoolo 3-0, Guardiola yategeezezza Arteta tebajja kumuzibira kkubo singa anaafuna omulimu omulala.

Wabula Guardiola yeegaanyi okubaako ky'amanyi oba nga waliwo enteeseganya eziriwo wakati wa Arsenal ne Arteta.

Omuspana Arteta ayogerwako ng'omu ku batendesi abasinga obwongo mu butendesi era y'ensonga lwaki ttiimu nnyingi zimuyaayaanira.

Freddie Ljungberg, omutendesi wa Arsenal ow'ekiseera, yagambye nti mwetegekefu okugenda n'ekyo boodi ya Arsenal ky'eneesalawo.

Ljungberg yaakatendeka Arsenal emipiira etaano nga ku gino awanguddeko gumu, bamukubye ebiri n'alemagana ebiri.

Ku Lwomukaaga, Arsenal yaakukyalira Everton mu Premier mu kaweefube gw'eriko okufuna obuwanguzi obugiggya mu katyabaga k'erimu.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu

Namasole wa Ssekabaka Mwang...

OLWALEERO Mariam Nampewo omusika wa Majeeri Lunkuse Namasole wa Mwanga II lwe bamuyingizza mu Lubiri lwe e Mpererwe...

Poliisi erung'amizza ku bib...

OMWOGEZI wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga ategeezezza nti poliisi ssi yaakukoma kuvunaana bantu abazzizza obusango...

Bazzukulu b’omugenzi Bangirana ne bakadde baabwe nga bassa ekimuli ku ssaanduuke y’omugenzi. Mu katono ye mugenzi Bangirana.

Eyawangudde mu kamyufu e Bu...

CANON Alfred Bangirana 71, eyawangudde okukwata bendera ya NRM ku bwassentebe bwa disitulikiti y’e Bushenyi yasangiddwa...