TOP
  • Home
  • Ebirala
  • Aba rugby ekisaawe tekibalemesa kunyumirwa mbirigo

Aba rugby ekisaawe tekibalemesa kunyumirwa mbirigo

Added 16th December 2019

Hima Cement Heathens ewangudde Makerere Impis ne yeeywereza ku ntikko

 Abazannyi ba Toyota Buffaloes ng abeeriga n'aba Mulago Rams mu liigi ku kisaawe kya Kyadondo Dec 14 2019. Buffaloes yawangudde Mulago Rams ku bugoba 05-03

Abazannyi ba Toyota Buffaloes ng abeeriga n'aba Mulago Rams mu liigi ku kisaawe kya Kyadondo Dec 14 2019. Buffaloes yawangudde Mulago Rams ku bugoba 05-03

Bya SILVANO KIBUUKA

Mu liigi ya Rugby:

Makerere Impis 03-59 Hima Cement Heathens

Stanbic Black Pirates 13-00 Hippos Jinja

Plascon Mongers 12- 15 Betway Kobs

Shell Rimula Rhinos 03-10 9 Barrel Warriors

Toyota Buffaloes 05-03 Mulago Rams.

Obuwanguzi aba Hima Cement Heathens bwe baatuuseeko ku bugenyi e Makerere gye baakubidde bannyinimu ku bubonero 59-03, bubayambye okwenywereza ku ntikko ya liigi ya rugby mu luzannya olusooka olwa sizoni ya 2019/20.

Balina obubonero 13 mu mipiira esatu gye baakazannya mu kaweefube gwe baliko okweddiza obwa nnantameggwa bwa liigi.

Impis gye baakubye byayongedde kugyonoonekera ng'ekyakoobedde ku kimeeza n'akabonero kamu.

Betway Kobs nayo yalaze essajja bwe yawangulidde ku bugenyi nga yakubye Plascon Mongers e Ntebe ku bugoba 15-12 n'esigala mu kyokusatu ku bubonero 10.

Warriors nayo yalumbye Rhino n'egikubira omwayo ku 10-03 ne yeenywereza mu kyokusatu ku bunonero 12.

Mu nsitaano eyabadde ku kisaawe kya Kyaddondo, bannyinimu aba Toyota Buffaloes baalumye n'ogwengulu okumegga Mulago Rams ku bugoba 05-03 mu luzannya abazannyi bwe baafulumidde nga bafaanana ng'obusolo.

Ekisaawe kino kye kimu ku biddibagiddwa enkuba nga burimu amazzi agatatambula era abazannyi embirigo ebeera mu bisooto.

Buffaloes yawangudde omupiira ogusoose sizoni eno mu nzannya ssatu n'esigala mu kyomunaana ku kimeeza nga ne Rams kye yabadde erwanira n'esigala mu kyomwenda.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Minista Haruna Kasolo ng'asomesa ku kwekulaakulanya n'enkozesa y'ensimbi za MYOOGA

Abatuuze b'ekira basomesedd...

MINISITA omubeezi akola kunsonga z'ebibiina byobwegassi Kyeyune Haruna Kasolo, akubiriza abantu okwebereramu nga...

Aba Twaweza bafulumizza ali...

KUNOONYEREZA kuzudde nti ab’enganda okusaba abantu babwe sente okubayambako okuvvuunuka embeera kifuuse kyabulijjo...

Mwanje (wakati) nga "bamunywedde"

Ofiisa munsonyiwe nva kuziika!

MAKANIKA eyeeyise owa poliisi bamukutte n’alwanagana n’abaserikale ng’agamba nti tebalina kye bayinza ku mukola....

Abawawaabirwa, Christine Guwatudde Kintu, Joel Wajala , John Martin Owor  ne Lutimba Kyeyune Fred Martin nga bali mu kaguli

Bana basimbiddwa mu kkooti ...

Abakungu bana okuva mu ofiisi ya Ssaabaminisita abavunaanibwa okulya eza COVID19 basindikiddwa mu kkooti ewozesa...

Sazir Lumala disitulikiti Kaadi w'e Mukono ng'ayogera n'abamawulire ku poliisi e Mukono.

Disitulikiti Kaadi w'e Muko...

Bya ERIC YIGA POLIISI e Mukono ekutte disitulikiti Kaadi waayo Sheikh Sazir Lumala naggulwako omusango gw'okukozesa...