
Nakate (ku ddyo) ng'akwasa abazannyi ba Makonkonyigo emipiira
Bya Samuel Kanyike
OMUBAKA omukazi owa Luweero Ying. Lillian Nakate Segujja, asabye abavubuka okumalira ebiseera mu bintu ebibayamba nga emizannyo egizimba omubiri n'okubagatta okusinga okukozesa ebiragala, okwenyigira mu bubbi n'ebirala ebijja okubasuula mu buzibu.
Yasinzidde Makonkonyigo mu ggombolola y'e Kamira mu Luweero, ng'akwasa abavubuka emipiira n'omujoozi n'abalabula ku kujaajamya emibiri gyabwe okwewala mukenenya n'enddwadde endala ez'ekikaba.
Yabasabye baleme kwemalira mu mizannyo gyokka wabula beegatte mu nteekateeka za Gavumenti ez'okulwanyisa obwavu basobole okweteekerateekera ebiseera byabwe eby'omumaaso.
Abavubuka baamutegeezezza nti baagala okulima nti kyokka tebalina ttaka sso nga n'abalipangisa baliseera ekibasibye mumbeera embi omubaka Nakate n'abawa amagezi okwegatta basobole okwang'anga ensonga eno.