TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Uganda yeetaaga kuwangula Kenya ewangule ekikopo kya CECAFA eky'abawala

Uganda yeetaaga kuwangula Kenya ewangule ekikopo kya CECAFA eky'abawala

Added 16th December 2019

Tanzania yalemaganye ne Uganda ggoolo 1-1 ku Ssande n'egiremesa okulangirirwa ku bwakyampiyoni.

 Abazannyi ba Uganda;Fauzia Najjemba, Cathy Nagadya, Juliet Nalukenge ne Shakira Nyinagahirwa nga basanyukira ggoolo gye baakubye Tanzania.

Abazannyi ba Uganda;Fauzia Najjemba, Cathy Nagadya, Juliet Nalukenge ne Shakira Nyinagahirwa nga basanyukira ggoolo gye baakubye Tanzania.

Mu za CECAFA U17 Girls Championship;

Uganda 1-1 Tanzania

Djibouti 0-4 Eritrea

Burundi 2-3 Kenya

TANZANIA yeezinze ku Uganda mu mpaka za z'omupiira gw'abawala abatasussa myaka 17 mu mawanga g'obuvanjuba n'amasekkati ga Africa okukkakkana ng'egiremesezza okulangirirwa ku bwakyampiyoni b'empaka zino ku Ssande.

Uganda ebadde yaakazannya emipiira esatu mu mpaka za CECAFA U17 Girls Championship eziyindira e Njeru ku kitebe kya FUFA eky'ebyekikugu nga gyonna egiwangudde era yabadde yeetaaga okuwangula Tanzania okuweza obubonero 12 olwo erangirirwe ku bwannantameggwa bw'empaka zino ezisookedde ddala mu byafaayo.

Yawezezza obubonero 10 ng'eddirirwa Tanzania ku bubonero 8 nga kati yeetaaga (Uganda) kuwangula Kenya mu gusembayo enkya (ku Lwokubiri) ewangule ampaka zino.

Tanzania yaakazannya emipiira 4 n'ewangulako ebiri n'okukola amaliri emirundi ebiri.

Empaka zino zeetabwamu ttiimu 6  ng'endala kuliko; Djibouti ekwata Tanzania mu gusembayo, Eritrea ne Burundi nabo abakwatagana.

Omutendesi wa ttiimu ya Uganda, Ayub Khalifa Kiyingi asuubizza Bannayuganda nti Kenya bagenda kugifiirako enkya ku Lwokubiri bagiggyeko obuwanguzi mu buli ngeri ekikopo kino tebagenda kukkiriza kuva Kampala. 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaana nga bagumbye ku

Bakubye ssengaabwe mu mbuga...

ABAANA batutte ssengabwe mu kakiiko k'eggombolola y'e Kyazanga nga bamulumiriza okubawuddiisa ne yezibika obukadde...

Komakech n'ebizibiti bye ku poliisi y'e Kawanda.

Abadde yakayimbulwa e Luzir...

Komakech ategeezezza nga bwabadde agenda okufa enjala nga yali asiiga njala z’abakazi wabula okuva bwe bayimiriza...

Testing video to see if it ...

aojdjadjdadojajdndn

Omusajja yansuulawo ng'omwa...

Nze Scovia Twetise 28, mbeera Bulamu-Gazaya, Texas. Mu 2005, nalina emyaka 15 omusajja yantuukirira n’ahhamba nti...

Eyagenda okusoma ddiguli e ...

Talina mpapula kw’akolera era agamba tasobola kudda kubanga bw’adda taddayo