TOP

Arsenal esibidde ku Arteta

Added 17th December 2019

Kigambibwa nti Arsenal etegese obukadde bwa pawundi 5, okubuwa Arteta mu ndagaano gye bategeka okumuwa

 Arteta

Arteta

ENSONDA ezeesigika okuva mu Arsenal, zikakasizza nga Mikel Arteta bw'agenda okusisinkana abakulu ba ttiimu ku by'okumuwa omulimu gw'obutendesi.

Bukya Arsenal egoba Unai Emery, omulimu ogw'ekiseera n'egukwasa Freddie Ljungberg, ezze enoonya gw'egenda okuwa omulimu guno ow'olubeerera. Abagikulira abasinga, baagadde kuleeta Arteta, eyagizannyirako.

Mu kiseera kino, Arteta, y'amyuka Pep Guardiola ku butendesi bwa Man City. Wabula kigambibwa nti bategese okumuwa endagaano ey'obukadde bwa pawundi 5 buli mwaka era wiiki eno eneeba tennaggwaako, ng'amaze okukkiriziganya nabo. Kyokka abakungu ba Man City beetegese, okuweesa Arsenal engassi, okutwala omutendesi waabwe.

Arteta yazannyirako Arsenal wakati wa 2011 ne 2016. Ebya Arsenal sizoni eno tebinnatereera nga mu Premier eri mu kifo kya 10, nga mu mipiira 5 egisembyeyo ewanguddemu gumu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ba Kansala ku district e Ki...

Ba Kansala ku district e Kiboga bakubye ebituli mu budget ya District

Emitimbagano gya Vision Gro...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Ensonga za Brian White ez'o...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Engeri akasaawe k'e Mulago ...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

 Poliisi n’abatuuze nga bateeka omulambo gwa Mukiibi ku kabangali.

Afiiridde mu kibanda kya fi...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono