TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Nkumba ekyeriisa nkuuli mu gya yunivasite e Kisubi

Nkumba ekyeriisa nkuuli mu gya yunivasite e Kisubi

By

Added 18th December 2019

NKUMBA University ba kyampiyoni ba Volleyball ne Handball sizoni ewedde batandikidde we baakoma okulwana okweddiza ebikopo n’emidaali mu mizannyo gya yunivasite za Uganda(18th AUUS University Games).

Bya GERALD KIKULWE

Mu mizannyo gya yunivasite

Volleyball(Abaami)

Nkumba 3-0 Gulu

Nkumba 3-2 UCU

Abakyala

Nkumba 3-0 MUST

Nkumba 3-0 Makerere

Handball(Abakyala)

Nkumba 25-13 Makerere

Nkumba 28-23 Kyambogo

Ba kyampiyoni bano tebannakubwamu mu nzannya zonna ze baakazannya era buli ttiimu ebasisinkanye ebaasimula bugolo ekitadde ababavuganya ku bunkenke.

Abawala tebanafunayo ttiimu yonna ebawa buzibu mu bitundu byonna ebya Handball ne Volleyball wabula abalenzi baafunye okusomooza ku bannantameggwa b'emizannyo gy'obuvanjuba bwa Afrika aba UCU bwe baabawangulidde mu kitundu ekisembayo(3-2).

Emizannyo gino egizannyibwa buli luvannyuma lwa myaka ebiri, giyindira ku University of Kisubi(UniK) e Ntebbe okuva ku Mmande ya wiiki eno nga zaakukomekkerezebwa ku Lwokutaano luno.

Yunivasite zonna ziwakanya mu mizannyo 17 omuli; Omupiira, Volleyball, Okubaka, Woodball, Okudduka,Rugby,Badminton,Basketball, Chess, Darts, Handball, Karate, Okuwuga, Pool, Scrabble, Tenna w'oku mmeeza ne Tennis.

Doreen Akiteng Kapiteeni wa Nkumba agamba nti olugendo lukyali lunene naye bagumu nti tewali ttiimu egenda kubalemesa kweddiza n'okuwangula ebirala mu mizannyo gya sizoni eno.

"Twazze kulwanirira buwanguzi bwaffe n'erinnya mu mizannyo gyaffe nga Volleyball, tetugenda kukkiriza ttiimu yonna kwekiika mu kkubo lyaffe, waakiri omudaali gwa ttiimu esinze mu mizannyo gyonna gutuleme naye tugenda kwefunza emizannyo egimu," Akiteng bwe yakakasizza.

Makerere University be baakawangula empaka zino emirundi emingi(12), Ndejje (4), KIU gumu ate endala zinoonya buwanguzi busooka.

 

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Akulira UNEB Dan Odongo.

UNEB be yasunsudde okutegek...

Bya Benjamin Ssebaggala  AKAKIIKO akagaba n'okusunsula abakozi mu minisitule y'ebyenjigiriza (Education Service...

Omusawo ng'agezesa bwe balongoosa.

''Mukebere abalwadde endwad...

AKULIRA eddwaaliro ly’e Mulago, Dr. Byarugaba asabye abasawo abalongoosa endwadde nga kkansa w’omu byenda essira...

Abamu ku baabadde mu lukiiko.

Ababadde basolooza busuulu ...

ABATUUZE beekubidde enduulu mu boobuyiinza babayambe obutatundirwa mu bibanja byabwe okubafuula emmomboze. Kiddiridde...

Omusajja ng'afuuyira mu ntebe z'omutuuze.

Balimwezo ne KCCA baggudde ...

Ekitongole kya KCCA nga bali wamu ne Balimwezo Community Foundation batongozza okufuuyira ebiku n’ebiyenje nnyumba...

Mwanje eyabula.

Omusajja eyabula yeeraliiki...

Ssande Mwanje 37, ow'e Gganda yeeraliikirizza mukyala we Aisha Nakanjako 28. Ono yamulekera abaana bana: omukulu...