TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Ndejje eyagala kweddiza bwa kyampiyoni mu mizannyo gya yunivasite e Kisubi

Ndejje eyagala kweddiza bwa kyampiyoni mu mizannyo gya yunivasite e Kisubi

By

Added 19th December 2019

YUNIVASITE y’e Ndejje ba kyampiyoni b’emizannyo gya yunivasite za Uganda sizoni nnya ez’omuddiring’anwa boolekedde okweddiza obwa nnantameggwa omwaka guno.

 Abazannyi ba Mountain of the Moon ku kkono Ivan Amanyire ne Robert Nuwagaba nga bazibira aba Ndejje

Abazannyi ba Mountain of the Moon ku kkono Ivan Amanyire ne Robert Nuwagaba nga bazibira aba Ndejje

Ku mizannyo 17 egiwakanirwa yunivasite 19, Ndejje yeetabye mu mizannyo 12 era y'esinze okuleeta abazannyi abazannya emizannyo egy'ejawulo okuli; Table Tennis, Basketball, Volleyball, Okuwuga, emisinde, Karate, Woodball, Lone Tennis, Badminton, Dart ne Handball.

Mu mizannyo gino gyonna(12)baakawangula emidaali gya zzaabu 30 nga tewali yunivasite ndala yaakikoze, ekirabika nga kitangaazizza emikisa gyabwe okweddiza obwa kyampiyoni omulundi ogwokutaano ogw'omuddiring'anwa.

Emizannyo gino egizannyibwa buli luvannyuma lwa myaka ebiri, gyatandika ku Mmande ya wiiki eno ku University of Kisubi(UniK)e Ntebbe nga giggwa leero (Lwakutaano).

Florence Nakamya omu ku batwala eby'emizannyo ku yunivasite y'e Ndejje agamba nti baalina abazannyi abasobola okuzannya emizannyo gyonna naye baalondayo egyo gyokka egigenda okubawa emidaali egy'enkizo.

"Yunivasite gy'ekoma okufuna emidaali emingi, n'okutangaaza emikisa gy'obwa kyampiyoni, tusigazzaayo emizannyo mutono okumanya wa wetumalidde naye nga tulina essuubi nti obwa nnantameggwa bwaffe," Nakamya bwe yakakasizza.

Makerere University be baakawangula empaka zino emirundi emingi(12), Ndejje (4), KIU gumu ate endala zinoonya buwanguzi busooka.

 

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Akulira UNEB Dan Odongo.

UNEB be yasunsudde okutegek...

Bya Benjamin Ssebaggala  AKAKIIKO akagaba n'okusunsula abakozi mu minisitule y'ebyenjigiriza (Education Service...

Omusawo ng'agezesa bwe balongoosa.

''Mukebere abalwadde endwad...

AKULIRA eddwaaliro ly’e Mulago, Dr. Byarugaba asabye abasawo abalongoosa endwadde nga kkansa w’omu byenda essira...

Abamu ku baabadde mu lukiiko.

Ababadde basolooza busuulu ...

ABATUUZE beekubidde enduulu mu boobuyiinza babayambe obutatundirwa mu bibanja byabwe okubafuula emmomboze. Kiddiridde...

Omusajja ng'afuuyira mu ntebe z'omutuuze.

Balimwezo ne KCCA baggudde ...

Ekitongole kya KCCA nga bali wamu ne Balimwezo Community Foundation batongozza okufuuyira ebiku n’ebiyenje nnyumba...

Mwanje eyabula.

Omusajja eyabula yeeraliiki...

Ssande Mwanje 37, ow'e Gganda yeeraliikirizza mukyala we Aisha Nakanjako 28. Ono yamulekera abaana bana: omukulu...