TOP

Mmotoka ziri Busiika

By

Added 25th December 2019

Ronald Ssebuguzi awaga kumalira mu kifo ekisooka mu mpaka za mmotoka ez’akafubutuko eziggalawo kalenda e Busiika.

 Mmotoka ya Ssebuguzi

Mmotoka ya Ssebuguzi

Omwaka guno gwonna, Ssebuguzi awanguddeyo empaka za mulundi gumu ezaali e Mukono ekimazeemu abamu ku bawagizi be amaanyi ng'ayagala kuwangula ez'akafubutuko e Busiika okubazzaamu amaanyi.

Empaka zino za nkya (Lwakuna) e Busiika nga ze ziggalawo kalenda y'ez'akafubutuko omwaka guno nga ku makya wajja kusookawo aba ddigi n'oluvannyuma aba mmotoka beeriise enfuufu.

"Omwaka gubaddemu okusomooza kungi, ez'akafubutuko ebbiri ezisembyeyo sizeetabyemu naye nnina obusobozi okuwangula zino ez'e Busiika newankubadde engule sijja giwangula naye emu esinga zero," Ssebuguzi bwe yategeezezza.

Hammed Ssemwanga akoze ku makubo yategeezezza ng'enteekateeka zonna bwe ziwedde, abavuzi 40 be bagenda okwetabamu nga baakuvuga olugendo lwa kiromita 6.39 wabula n'alabula abawagizi okwekuumira ewala n'emmotoka we ziyita okwewala obubenje ng'omwaka guggalawo.

"Tetwagala muwagizi yenna kuddamu kufuna kabenje mu muzannyo gwaffe era tutaddewo olukomera nga tetwagala muntu yenna kulusukka ate n'ebyokwerinda tubyongeddemu kuba twagala tunyumirwe olunaku," Ssemwanga bwe yakakasizza.

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaasomerako e Kako nga bawaayo ebintu

Abaasomerako e Kako bawadde...

ABAYIZI abaasoomerako e Kako abeegattira mu kibiina kya Kako Old Students Association (KOSA) badduukiridde essomero...

RDC Kirabira ne ssentebe Matia Bwanika nga batema ddansi. EBIFAANANYI BYA PETER SSAAVA

CAO wa Wakiso atabaganyizza...

Akabaga kano akaabaddewo ku Lwokuna ku Maya Nature resort mu ggombolola y'e Nsangi e Wakiso, keetabiddwaako abakulira...

Omugenzi Sgt. Dick Magala

Abapoliisi abaafiiridde mu ...

GIBADDE miranga na kwazirana ku kitebe ky’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango (CID) e Kibuli...

Ebimu ku bibala ebitwalibwa ebweru. Mu katono ye Kanyije.

Abatwala ebirime ebweru bee...

Abat wala ebirime ebweru w’eggwanga beemulugunya ku buseere bw’entambula y’ennyonyi ez’emigugu ng’ebisale byalinnyisibwa...

Ssentebe wa Luwafu B, Iga Gonzaga ng’annyonnyola abamu ku batuuze be ebyavudde mu kkooti.

Kkooti eyimirizza NEMA okug...

ABATUUZE b’e Kansanga abasoba mu 300 bafunye ku buweerero Kkooti Enkulu bw’efulumizza ekiragiro ekigaana ekitongole...