TOP

Semakula ayagala bukulu mu FMU

Added 1st January 2020

NG’ABANTU ab’enjawulo bakyalaga obwagazi okuvuganya ku bifo by’ekibiina ekitwala omuzannyo gwa mmotoka ne ddigi z’empaka (FMU), Goerge Ssemakula, omusomi wa maapu naye yeesowoddeyo.

 Semukala ku mmotoka mw’asomera maapu

Semukala ku mmotoka mw’asomera maapu

Ssemakula, ye yawangudde engule y'ez'akafubutuko mu basomi ba maapu ate nga ku ngule y'eggwanga (NRC), yamalidde mu kyakubiri.

Maapu, abadde agisomera Arthur Blick Jr. Ng'ayogerako ne Bukedde, yategeezezza nti, "Bwe tunaamala empaka z'e Mbarara mu January, ng'enda kuzzaayo layisinsi kwe nvuganyiza mu mmotoka nsobole okwesimbawo ku bukulembeze bwa FMU ng'omumyuka wa pulezidenti ku nsonga za ddigi."

"Ddigi nazivugako, batabani bange (Miguel ne Jonathan Katende) bazivuga mu mitendera gy'abato era mmanyi obulumi omuvuzi n'omuzadde bwe bayitamu era y'ensonga lwaki nsazeewo okukivuganyaako," Ssemakula, mutabani wa Godfrey Mukiibi Katende eyaliko kafulu wa ddigi mu gy'e 90 bwe yagasseeko.

Okulonda kwa FMU kusuubirwa okubaawo mu February. Ssemakula yeegasse ku Leon Ssenyange (abadde asomera Ronald Ssebuguzi maapu) g'ono naye ayagala kifo ku bukulembeze bwa FMU.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Agugulana ne KCCA atiisizza...

HAJJI Rashid Ssenyonjo Musisi atiisizza okukung'anya famire ye batuule mu luguudo ompi n'amayumba ge e Lweza...

Trump anywezezza ebyokwerin...

Abaserikale abamukuuma beebulungudde White House okuva mu ggye erimanyiddwa nga The Washington, DC National Guard,...

 Mwamula Juma, the UPTU General Secretary speaking the press in Kampala. Looking on is a member of UPTU. Courtesy photo

Uganda Private Teachers Uni...

Mwamula Juma, the UPTU General Secretary said the government directive is more of a populist voice than a realistic...

 Kayiwa

Munnamakolera asabye Gav't ...

MUNNAMAKKOLERO Steven Kayiwa nga y'akiikirira Bannamakkolero mu lukiiko lwa Buganda olukulu asabye gavumenti eyawakati...

Bagabidde abakozi b'Abachin...

MINISITULE y'ebyobulamu egabidde abakozi mu b'omu nnimiro z'abachina abalimira omuceere mu Lwera n'abavubi b'oku...