TOP

Owa Leeds atidde Pepe mu gwa FA Cup

Added 5th January 2020

Arsenal ye ttiimu ekyasinze okuwangula ebikopo bya FA Cup ebingi.

 Nicolas Pepe omuzannyi wa Arsenal.

Nicolas Pepe omuzannyi wa Arsenal.

OMUTENDESI wa Leeds United, Marcelo Bielsa atidde nti omuzannyi wa Arsenal, Nicolas Pepe yandikuba ttiimu ye awabi bwe banaaba basisinkanye mu FA Cup ku laawundi eyookusatu.

Arsenal ekyaza Leeds enkya nga ttiimu zombi zirwana okwesogga oluzannya olwokuna kyokka Bielsa agamba nti Pepe, muzannyi muzibu nnyo era yandikuba ttiimu yaabwe awabi.

Bielsa ye yagula Pepe mu Angers n'amuleeta mu Lille eya Bufalansa era obukadde bwa pawundi mwenda bwe bwamuleeta.

 arcelo ielsa atendeka eeds nited Marcelo Bielsa atendeka Leeds United.

 

Wabula omutendesi wa Leeds ono agamba nti obukadde bwa bawundi 72, Arsenal bwe yamugula mu katale akayise bumugwana era ajja kubakolera olw'ekitone ky'alina.

Omuteebi ono enzaalwa ya Ivory Coast, yateebye ggoolo esooka Arsenal bwe yabadde ewangula ManU ggoolo 2-0 wiikendi ewedde mu Premier.

Omutendesi wa Arsenal, Mikel Arteta agenda kujja mu mupiira guno ng'eyagala buwanguzi bwa mulundi gwakubiri bwa muddiring'anwa olwo beesogge oluzannya oluddako.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ab'amasomero g'obwannannyin...

ABAKULIRA amasomero g’obwanannyini bateegezezza nga bwebetegese okuddamu okusomesa abaana.

NABILLAH ABUUZIZZA ABA FDC ...

Mercy Walukamba, akulira akakiiko k’ebyekulonda mu kibiina kya NUP, yalangiridde Nabillah ku buwanguzi oluvannyuma...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...