TOP

Mutebi alabudde Mbarara City

Added 7th January 2020

Omutendesi wa KCCA FC Mike Mutebi agambye nti kikafuuwe Mbarara City FC okumukibira ku butaka ku kisaawe kya StarTimes Stadium we bagenda okukwataganira enkya (Lwakusatu) mu luzannya lwa liigi olwokubiri.

 Omutendesi wa KCCA FC Mike Mutebi Jan 7 2019 ng'annyonyola bannamawulire e Lugogo. (ekif:Silvano Kibuuka)

Omutendesi wa KCCA FC Mike Mutebi Jan 7 2019 ng'annyonyola bannamawulire e Lugogo. (ekif:Silvano Kibuuka)

KCCA tewangulanga ku Mbarara City FC mu myaka esatu egiyise nga mu gwasembye mu liigi KCCA yawanguliddwa e Mbarara ggoolo 2-1.

KCCA eri mu kyakubiri ku kimeeza kya liigi n'obubonero 32 ate nga Mbarara eri mu kyamunaana n'obbonero 19.

"Tetubanyooma era tubawa ekitiibwa nti balungi naye ku luno nedda teri kutuwangula. Bano balina omutendesi omulungi Bryan Senyonjo naye abasambi bange bamusaayimuto ababadde n'obuvune bakomyewo", Mutebi bw'ategeezezza bannamawulire mu kutendeka kwa kiraano mu ttuntu lya leero.

Amenye abasambi be abawerako okuli Sadam Juma, Sam Ssenyonjo, Jackson Nunda, Mike Mutyana, Sadat Anaku ne Mustafa Mutyaba ababadde abalwadde nga kati bakomyewo balamu.

Wabula abasambi ababade  tebava mu mawulire, Allan Okello ne Mustafa Kizza nga bwe bali abalwadde.

"Kizza alina obuvune mu kisambi ate Okello alina omusujja", bwe yalambise wabula n'ayongerako nti KCCA neetegefu okubawa endagaano ensava kyokka singa banaagigaana tebajja kubeegayirira.

Abawabudde nti waliwo ebeeyita ba ajeenti abababuzaabuza ku ssente ennyingi mu makiraabu ebweru n'agamba nti tebanatuuka.

Sizoni eno Mutebi era agaanyi omugula abazannyi nti bonna b'aguza tebamuyambye.

Abasambi abalala abatasuubirwa mu mupiira enkya ye Simon Serunkuma ne Keziron Kizito be yagambye nti yabawummuzza emyezi ebiri ogwa December ne January lwa kwebulankanya ne batajja mu kutendekebwa e Lugogo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mwanje (wakati) nga "bamunywedde"

Ofiisa munsonyiwe nva kuziika!

MAKANIKA eyeeyise owa poliisi bamukutte n’alwanagana n’abaserikale ng’agamba nti tebalina kye bayinza ku mukola....

Abawawaabirwa, Christine Guwatudde Kintu, Joel Wajala , John Martin Owor  ne Lutimba Kyeyune Fred Martin nga bali mu kaguli

Bana basimbiddwa mu kkooti ...

Abakungu bana okuva mu ofiisi ya Ssaabaminisita abavunaanibwa okulya eza COVID19 basindikiddwa mu kkooti ewozesa...

Sazir Lumala disitulikiti Kaadi w'e Mukono ng'ayogera n'abamawulire ku poliisi e Mukono.

Disitulikiti Kaadi w'e Muko...

Bya ERIC YIGA POLIISI e Mukono ekutte disitulikiti Kaadi waayo Sheikh Sazir Lumala naggulwako omusango gw'okukozesa...

Abasiraamu balabuddwa okuko...

BYA JAMES  MAGALA  Kino kidiridde Poliisi okuyoola abasiraamu 25 e Mpingi nga bagambibwa okuba abayeekera mu...

Bagudde ku mulambo gwa mutu...

Abatuuze b'e Kawaala zooni 2 mu divizoni y'e Rubaga baguddemu ekyekango bwe basanze mutuuze munnaabwe nga yafiridde...