TOP

KCCA yeggyeeko ekikwa

Added 8th January 2020

Mbarara City evudde mu kisaawe e Lugogo nga yeevuma emikisa gy’esubiddwa.

 Jasper Aheebwa (ku ddyo) ng'atayiza Muzamiru Mutyaba (wakati).  Ku kkono ye Swalik Bebe owa Mbarara City.

Jasper Aheebwa (ku ddyo) ng'atayiza Muzamiru Mutyaba (wakati). Ku kkono ye Swalik Bebe owa Mbarara City.

KCCA 1-0 Mbarara City

ABAWAGIZI ba KCCA FC babinuse masejjere e Lugogo bwe baawangudde Mbarara City (1-0) ne beeyambula ekikwa kye baludde nakyo ku ttiimu y'omu bugwanjuba eno.

Ggoolo y'omuzibizi Filbert Obenchan mu ddakiika eya 51 ye yawadde KCCA obuwanguzi n'egyongera n'essuubi ly'okweddiza ekikopo kya liigi.

 ike utyaba ku kkono ngattunka ne walik ebe Mike Mutyaba (ku kkono) ng'attunka ne Swalik Bebe.

 

Mu nsisinkano omukaaga (6) ez'emabega, Mbarara ekubyemu KCCA emu ate endala 5 ziggweeredde mu maliri. Mbarara evudde mu kisaawe nga yeevuma emikisa gy'esubiddwa.

Guno gwe mupiira ogusoose eri ttiimu zombi mu luzannya olwokubiri olwa liigi ya babinywera (StarTimes Uganda Premier League). Allan Okello ne Mustafa Kizza omupiira guno tebaguzannye nga kigambibwa nti omutendesi Mike Mutebi yatandise okwetegekera embeera nga tebali mu ttiimu eno. Okello ne Mustafa bakyaagannyi okukkanya ku ndagaano zaabwe empya ne KCCA

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kato Lubwama nga tebannamulongoosa

Omubaka Kato Lubwama bamulo...

OMUBAKA Kato Lubwama ( Lubaga South) amaze essaawa ssatu mu sweeta ng'abasawo bamulongoosa n'okumwekebegya omulundi...

Masaka City etongozeddwa wa...

WADDE nga wazzeewo okusika omuguwa mu kutongozebwa kw'ekibuga Masaka ekyafuuliddwa CITY tekirobedde bakulembeze...

Bagguddewo ekifo we basibir...

Bya ERIC YIGA ABATUUZE ku  mwalo gw'e Katosi mu  disitulikiti y'e Mukono beekozeemu  omulimu  mu nkola  ya bulungi ...

Oba kiki ekyatuuka ku nnyum...

ABATAMBUZE abayita ku kyalo Nkuke mu ggombolola y'e Buwunga mu Masaka bebuuza ekyatuuka ku y'Ambasada era eyaliko...

Agafa ku bidduka: Laba omug...

Emmotoka ezifiira ku nguudo zeeyongedde obungi nga kigambibwa nti ekizibu kivudde ku bbanga eddene lye zaamala...