TOP
  • Home
  • Ebikonde
  • Abakubi b'ebikonde abaayiseemu batandise okwetegeka

Abakubi b'ebikonde abaayiseemu batandise okwetegeka

Added 10th January 2020

Uganda enoonya mudaali gwa bikonde gusooka mu mizannyo gya olympics mu myaka 40.

 Stanely Mugerwa ku kkono ng'attunka ne Shadir Musa (ku ddyo). Musa y'omu ku bakubi abaayiseemu.

Stanely Mugerwa ku kkono ng'attunka ne Shadir Musa (ku ddyo). Musa y'omu ku bakubi abaayiseemu.

TTIIMU y'eggwanga ey'ebikonde ‘The Bombers' y'abazannyi 13 etandise okwetegekera empaka z'okusunsulamu abagenda okwetaba mu mizannyo gya Olympics egigenda okubaawo omwaka guno mu kibuga Tokyo ekya Japan.

Mu kiseera kino abazannyi 13 abaayise mu kakung'unta akaabaddewo wiikendi ewedde e Lugogo baali mu kutegekebwa ku kiraabu zaabwe ez'enjawulo olwo ku Ssande eno January 12 lwe bagenda okuyingira enkambi  mu kutendekebwa kaasammeeme e Luzira.

Baakusooka mu kusunsulamu kw'abakubi b'ebikonde abagenda okwetaba mu mizannyo gya Olympics okuva mu Afrika okw'okubaawo wakati wa February 20 ne 29 e Dakar Senegal.

Uganda yasemba okufuna omudaali mu mizannyo gya Olympics mu bikonde mu 1980 e Moscow mu Russia.

Kw'olwo, John 'Beast' Mugabi yawangula omudaali gwa feeza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Minista Haruna Kasolo ng'asomesa ku kwekulaakulanya n'enkozesa y'ensimbi za MYOOGA

Abatuuze b'ekira basomesedd...

MINISITA omubeezi akola kunsonga z'ebibiina byobwegassi Kyeyune Haruna Kasolo, akubiriza abantu okwebereramu nga...

Aba Twaweza bafulumizza ali...

KUNOONYEREZA kuzudde nti ab’enganda okusaba abantu babwe sente okubayambako okuvvuunuka embeera kifuuse kyabulijjo...

Mwanje (wakati) nga "bamunywedde"

Ofiisa munsonyiwe nva kuziika!

MAKANIKA eyeeyise owa poliisi bamukutte n’alwanagana n’abaserikale ng’agamba nti tebalina kye bayinza ku mukola....

Abawawaabirwa, Christine Guwatudde Kintu, Joel Wajala , John Martin Owor  ne Lutimba Kyeyune Fred Martin nga bali mu kaguli

Bana basimbiddwa mu kkooti ...

Abakungu bana okuva mu ofiisi ya Ssaabaminisita abavunaanibwa okulya eza COVID19 basindikiddwa mu kkooti ewozesa...

Sazir Lumala disitulikiti Kaadi w'e Mukono ng'ayogera n'abamawulire ku poliisi e Mukono.

Disitulikiti Kaadi w'e Muko...

Bya ERIC YIGA POLIISI e Mukono ekutte disitulikiti Kaadi waayo Sheikh Sazir Lumala naggulwako omusango gw'okukozesa...