TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Abamyuka b'omutendesi wa Cranes basisinkanye mu gwa liigi

Abamyuka b'omutendesi wa Cranes basisinkanye mu gwa liigi

Added 10th January 2020

Police ye yatwala ekikopo kya liigi mu 2005 kyokka okuva olwo ekikopo kigiwunyira ziizi.

 Ttiimu ya Wakiso Giants eyatandika ogumu ku mipiira gya liigi.

Ttiimu ya Wakiso Giants eyatandika ogumu ku mipiira gya liigi.

Lwamukaaga mu StarTimes Uganda Premier League;

Wakiso Giants - Police, 9:00

Ensiike ya StarTimes Uganda Premier League ey'enkya (Lwamukaaga) esuubirwa okubaako n'obugombe abamyuka b'omutendesi wa Cranes ababiri bwe banaaba bakwataganyeeko.

Wakiso Giants etendekebwa Livingstone Mbabazi (omumyuka w'omutendesi wa Cranes owookubiri) egenda kuttunka ne Police ya Abdallah Mubiru (omumyuka w'omutendesi wa Cranes asooka).

 babazi atendeka akiso iants Mbabazi atendeka Wakiso Giants.

 

Ttiimu zombi zaagala buwanguzi mu ngeri yonna nga Police eri mu ky'e 14 ku bubonero 12, kigiyamba okulinnya ebifo n'esemberera okuva mu luse lwa ttiimu ezisalwako.

Mu ngeri y'emu, Wakiso Giants eyoomusanvu ku 20, eyagala kwongera kulinnya mu bifo eby'oku ntikko.

 ubiru atendeka olice Mubiru atendeka Police

 

Mu gwasooka ogwali e Lugogo, Police yawangula ggoolo 2-1 era Wakiso Giants eyagala kwesasuza bwe nga basisinkanye ku kisaawe e Wakisha.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulimu gw'okuddaabiriza Nk...

Abaasomerako ku ssomero lya Nkumba P/S bayingidde omutendera ogw'okusatu mu kuddaabiriza ebizimbe ku ssomero lino...

UGANDA EKWATA KISOOKA MU AF...

OMUWANDIISI w'enkalakkkalira mu minisitule y'ebyobulamu Dr Diana Atwine abugaanye essanyu oluvanyuma lw'okufuna...

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu