TOP

Tooro United bagikecuddeko obubonero 3!

By

Added 11th January 2020

TOORO United FC mu liigi y’eggwanga eya babinywera byongedde okujonoonekera, olukiiko olukwasisa empisa mu FUFA bwe lubasazeeko obubonero busatu ne ggoolo ssatu olw’okulemererwa okuzannya omupiira gwabwe ogwagguddewo ekitundu kya liigi ekyokubiri sizoni eno.

 Abazannyi ba Onduparaka nga bajaganya mukikopo kya Super 8 ku ntan

Abazannyi ba Onduparaka nga bajaganya mukikopo kya Super 8 ku ntan

Ku Lwokubiri lwa wiiki eno (January 7), Tooro yali ekyazizza Onduparaka FC mu Star Times Uganda Premier League wabula ku kisaawe kwaliko abazannyi bana bokka aba Tooro nga tebasobola kuzannya Onduparaka eyalina abazannyi 9.

Mu mateeka g'omupiira, ttiimu okukkirizibwa okuzannya omupiira erina okuba ng'eweza abazannyi abatakka wansi wa musanvu.

Wano akakiiko akakwasisa empisa mu FUFA nga kakulembeddwaamu ssentebe Deo Mutabaazi we kasinziiridde okuwa Onduparaka obubonero busatu ne ggoolo ssatu oluvannyuma lwa Tooro okulemererwa okuwa ensonga erimu eggumba.

"Okusinziira ku tteeka lya FUFA nnamba 26(3), ttiimu bbiri nga tezinazannya mupiira, ba kapiteeni bawaayo Layisensi z'abazannyi abasukka mu mukaaga nga bayambibwako baddifiri, kino Tooro teyakikola era wano tubasazeeko obubonero(3) ne ggoolo(3) ne biweebwa Onduparaka FC," Mutabaazi bwe yakakasizza.

Tooro kati yeegasse ku Proline FC ne Police FC abasaliddwaako obubonero sizoni eno olw'okulemererwa okuzannya emipiira gya liigi.

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Akulira UNEB Dan Odongo.

UNEB be yasunsudde okutegek...

Bya Benjamin Ssebaggala  AKAKIIKO akagaba n'okusunsula abakozi mu minisitule y'ebyenjigiriza (Education Service...

Omusawo ng'agezesa bwe balongoosa.

''Mukebere abalwadde endwad...

AKULIRA eddwaaliro ly’e Mulago, Dr. Byarugaba asabye abasawo abalongoosa endwadde nga kkansa w’omu byenda essira...

Abamu ku baabadde mu lukiiko.

Ababadde basolooza busuulu ...

ABATUUZE beekubidde enduulu mu boobuyiinza babayambe obutatundirwa mu bibanja byabwe okubafuula emmomboze. Kiddiridde...

Omusajja ng'afuuyira mu ntebe z'omutuuze.

Balimwezo ne KCCA baggudde ...

Ekitongole kya KCCA nga bali wamu ne Balimwezo Community Foundation batongozza okufuuyira ebiku n’ebiyenje nnyumba...

Mwanje eyabula.

Omusajja eyabula yeeraliiki...

Ssande Mwanje 37, ow'e Gganda yeeraliikirizza mukyala we Aisha Nakanjako 28. Ono yamulekera abaana bana: omukulu...