TOP
  • Home
  • Ebyemizannyo
  • City Oilers etandise ewunya kikopo kya Basketball ekyomusanvu

City Oilers etandise ewunya kikopo kya Basketball ekyomusanvu

By

Added 11th January 2020

CITY Oilers bannantameggwa ba liigi ya babinywera eya Baskeskeball mu ggwanga batandise okuwunyiriza ku vvumbe ly’okweddiza ekikopo kino omulundi ogwomusanvu ogw’omuddiring’anwa.

Fadhili Chuma owa UCU ng'attunka ne Josh Johnson owa City Oilers

Fadhili Chuma owa UCU ng'attunka ne Josh Johnson owa City Oilers

Mu fayinolo ya Basketball

City Oilers 63-57 UCU Canons

Ku Lwokutaano January 10 mu MTN Arena, Oilers yafunye obuwanguzi obw'omulundi ogwokusatu kw'ezo omusanvu ze balina okuttunka ku fayinolo y'omwaka guno, yakubye UCU Canons(63-57).

Kati ku nzannya ennya ze baakazannya kw'ezo omusanvu ezirina okuzannyibwa, Oilers yaakawangulako 3-1, ssinga ewangula oluzannya oluddako ejja kuba erangirirwa ku bwa kyampiyoni bw'omwaka guno omulundi ogwomusanvu ogw'omuddiring'anwa.

Jimmy Enabu kapiteeni wa City Oilers ye yasinze okuteeba(23), libbaawundi 8 ate n'ayambako abalala mu kuteeba emirundi etaano n'addirirwa James Okello(20). Ate David Deng ye yasinze okuteebera UCU Canons(16) n'addirirwa Fadhil Chuma(11).

City Oilers enoonya kikopo kya musanvu ate UCU Canons enoonya kisooka. Oluzannya olwokutaano lwa wiiki ejja ku lwokusatu(January 15).

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...

Abazigu balumbye ekigo ne b...

Abazigu ababadde n'ebijambiya, emitayimbwa saako ennyondo bazinze ekigo kya Kabulamuliro Catholic Parish, ne bamenya...