TOP

Maroons eyombya Bamweyana

Added 11th January 2020

OMUTENDESI wa Maroons FC amaziga gabuze okumuyitamu ku kisaawe e Luzira ttiimu ye bwe yalemereddwa okuteeka mu nkola obukodyo bwe yagiwadde n’ekubwa Proline FC ggoolo 2-1.

Omutendesi Douglas Bamweyana ng'amaziga gaagala okumuyitamu olw'obusungu

Omutendesi Douglas Bamweyana ng'amaziga gaagala okumuyitamu olw'obusungu

Egyazanyiddwa  mu liigi ya ‘Super'

Busoga United 2-1 Express

SC Vipers 1-0 Kyetume

Maroons 1-2 Proline

Bright Stars 1-0 BUL

Leero(Lwamukaaga)

Wakiso Giants - Police, Wakisha

Ku Lwokutaano January 10, Proline yazze mu biwundu bya Maroons omulundi ogwokubiri ogw'omuddiring'anwa oluvannyuma lw'okubakuba ggoolo 3-2 mu nsiike eyasooka e Lugogo, ekyatabudde ennyo omutendesi n'abulwa okwoza ku mmunye.

Mustafa Mujuzi kapiteeni wa Proline yaweereddwa kkaadi emyufu mu ddakiika eye 72 oluvannyuma lw'okuweebwa eza kyenvu bbiri, kino ky'awadde Maroons amaanyi okulumba, wabula Proline yataddeyo kibbaasi okulwanirira ggoolo zaabwe 2-0 ze baafunye mu kitundu ekisooka.

Ggoolo za Proline z'ateebeddwa Diego Amiisi Kizza mu kitundu ekyasoose ate Steven Mukwala n'afunira Maroons mu ddakiika eya 65.

"Abasambi bandiddemu olukwe, ebiragiro byonna bye nabawadde tebabigoberedde, guno omupiira tubadde tusobola okuguwangula naye bonna babadde basambisa bugayaavu, ggoolo zonna ze batuteebye zivudde mu bulagajjavu," Bamweyana atendeka Maroons bwe yeesoozezza.

Anthony Bagole omumyuka w'omutendesi wa Proline agamba nti ekitundu kya sizoni kino baagala kwennyulula kuva mu nvuba zaakusalwako, era buli mupiira bagusamba nga fayinolo.

Proline ekyakwebedde wansi ku kimmeeza kya Star Times Uganda Premier League n'obubonero 12 ate Maroons eri mukya kkumi n'obubonero 19, SC Vipers yeekulembedde(39).

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omumyuka wa Pulezidenti wa FDC Joyce Ssebuggwawo (ow’okubiri ku ddyo) ng’atongoza akakiiko k’ekibiina akagenda okuyigga obululu bwakyo mu Kampala ne Wakiso.

FDC etongozza akakiiko akan...

FDC etongozza akakiiko akagenda okunoonyeza abantu baayo akalulu mu Kampala ne Wakiso n’etegeeza nti Col. Kiiza...

Shakira Bagume ng'ayonsa bbebi we

Laba okusoomooza bamaama ab...

Okuyonsa abaana kyankizo nnyo eri abaana abawere era Maama yenna ateekeddwa okuyonsa kino kisobozese omwana okukula...

Aba LDU bazzeemu okukola eb...

ABASERIKALE b’eggye ekkuuma byalo erya LDU, bazzeemu okukola ebikwekweto okufuuza abateeberezebwa okubeera abamenyi...

Poliisi ng'eggyawo omulambo gwa Mukiibi

Omusuubi w'e Nakulabye yeek...

OMUSUUBUZI w’e Nakulabye omututumufu aguze amafuta ga petulooli ne yeekumirako omuliro mu kinaabiro emisana ttuku...

Abeegwanyiza entebe y'obwap...

EBBUGUMU lyeyongedde ku kitebe ky’akakiiko k’ebyokulonda abantu abeegwanyiza entebe y’obwapulezidenti bw’eggwanga...