TOP
  • Home
  • Ebirala
  • City Oiler ewuyunyiriza ekikopo kya basketball

City Oiler ewuyunyiriza ekikopo kya basketball

By

Added 12th January 2020

City Oiler bw'ewangula oluzannya olugenda okubeerawo ku Lwokusatu, yaakulangirirwa ku bwakyampiyoni.

 Fadhili Chuma owa UCU (ku ddyo) ng'attunka ne Josh Johnson owa City Oilers ku Lwokutaano.

Fadhili Chuma owa UCU (ku ddyo) ng'attunka ne Josh Johnson owa City Oilers ku Lwokutaano.

Mu fayinolo ya Basketball

City Oilers 63-57 UCU Canons

CITY Oilers bannantameggwa ba liigi ya babinywera eya basketball mu ggwanga batandise okuwunyiriza ku kawoowo k'ekikopo kya sizoni eno.

Bano baagala kukyeddiza omulundi ogwomusanvu ogw'omuddiring'anwa oluvannyuma lw'obuwanguzi bwe baatuuseeko ku Lwokutaano.

Mu nsiitaano eyabadde mu MTN Arena, City Oilers yamezze UCU Canons ku bugoba 63-57 n'efuna obuwanguzi obw'omulundi ogwokusatu kw'ezo enzannya omusanvu ze balina okuttunka ku fayinolo y'omwaka guno.

nabu owa ity ilers nomupiira ngagezaako okugussa mu katimbaEnabu owa City Oilers n'omupiira ng'agezaako okugussa mu katimba.

 

Kati ku nzannya ennya ze baakazannya, City Oilers yaakawangulako 3-1, era ssinga ewangula oluzannya oluddako, ejja kulangirirwa ku bwakyampiyoni bw'omwaka guno omulundi ogwomusanvu ogw'omuddiring'anwa.

Jimmy Enabu kapiteeni wa City Oilers ye yasinze okuteeba yateebye obugoba (23), ne libaawundi 8 ate n'ayambako abalala mu kuteeba emirundi etaano n'addirirwa James Okello (yateebye 20).

David Deng ye yasinze okuteebera UCU Canons (yateebye obugoba 16) n'addirirwa Fadhil Chuma (11).

City Oilers, enoonya kikopo kyamusanvu ate UCU Canons enoonya kisooka. Oluzannya olwokutaano lwa Lwakusatu nga January 15 ejja ku Lwokusatu e Lugogo.

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaasomerako e Kako nga bawaayo ebintu

Abaasomerako e Kako bawadde...

ABAYIZI abaasoomerako e Kako abeegattira mu kibiina kya Kako Old Students Association (KOSA) badduukiridde essomero...

RDC Kirabira ne ssentebe Matia Bwanika nga batema ddansi. EBIFAANANYI BYA PETER SSAAVA

CAO wa Wakiso atabaganyizza...

Akabaga kano akaabaddewo ku Lwokuna ku Maya Nature resort mu ggombolola y'e Nsangi e Wakiso, keetabiddwaako abakulira...

Omugenzi Sgt. Dick Magala

Abapoliisi abaafiiridde mu ...

GIBADDE miranga na kwazirana ku kitebe ky’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango (CID) e Kibuli...

Ebimu ku bibala ebitwalibwa ebweru. Mu katono ye Kanyije.

Abatwala ebirime ebweru bee...

Abat wala ebirime ebweru w’eggwanga beemulugunya ku buseere bw’entambula y’ennyonyi ez’emigugu ng’ebisale byalinnyisibwa...

Ssentebe wa Luwafu B, Iga Gonzaga ng’annyonnyola abamu ku batuuze be ebyavudde mu kkooti.

Kkooti eyimirizza NEMA okug...

ABATUUZE b’e Kansanga abasoba mu 300 bafunye ku buweerero Kkooti Enkulu bw’efulumizza ekiragiro ekigaana ekitongole...