TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Aubameyang waakusubwa omupiira gwa Chelsea mu Premier

Aubameyang waakusubwa omupiira gwa Chelsea mu Premier

Added 12th January 2020

Arsenal ezzaako kuttunka ne Sheffield United ku Lwomukaaga, omupiira gw'erina okuwangula okutangaaza emikisa gyayo okumalira mu bana abasooka.

 Aubameyang (ku kkono) ng'attunka ne James McArthur owa Crystal Palace.

Aubameyang (ku kkono) ng'attunka ne James McArthur owa Crystal Palace.

Abawagizi ba Arsenal abaavudde ku kisaawe kya Selhurst Park ekya Crystal Palace balina okuba abasanyufu olw'akabonero ke baggyeeyo.

Baalemaganye ggoolo 1-1 mu nsiike ya Premier eyabaddewo ku Lwomukaaga kyokka ensiike eno kaabuze kata baleme kuggyayo wadde akabonero.

Arsenal ye yasoose okuteeba mu ddakiika y'e 12 ne ggoolo ya kapiteeni Pierre Aubameyang kyokka mu ddakiika ya 54, Jordan Ayew n'akuba ey'ekyenkanyi.

Guno gwabadde mupiira gwakutaano sizoni eno nga Arsenal bagiva emabega ne bagiyunga.

Benkanyizza likodi gye bassaawo mu sizoni ya 2010-2011 era bwe baabava emabega mu mipiira gye gimu ne babalemesa okuwangula.

Mu mupiira gye babavudde emabega, Arsenal bagikubyeko ena ate emirala ena ne giggweera mu maliri.

Mu mupiira guno, kapiteeni Aubameyang yafuniddemu kaadi emmyuufu olw'okuzannyisa ettima ku Max Meyer ekitegeeza nti waakusubwa emipiira esatu egiddako.

Arsenal yasigaddewo mu kifo eky'e 10 ku bubonero 28 mu mipiira 22.

 

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...

Lubega

Ebikonde sibyevuma - Lubega

OMUGGUNZI w'ehhuumi, Joey Vegas Lubega annyuse ebikonde oluvannyuma lw'emyaka 23 bukya alinnya kigere kye ekisooka...

Donald Trump

Trump alemeddeko ku by'akal...

EBY’AKALULU ka ssaayansi byongedde Donald Trump n’ategeeza nga bw’ali omusajja omukulu atayinza kukkiriza kuleka...

Paapa eyawummula Joseph Aloisius Ratzinger

Paapa Joseph Aloisius Ratzi...

PAAPA Benedict XVI eyawummula ng’amannya ge ag’obuzaale ye Joseph Aloisius Ratzinger muyi. Ratzinger 93 obulwadde...

Abaabadde balambula ppaaka ekolebwa.

Abakola ppaaka enkadde bale...

Bakansala ba KCCA abatuula ku kakiiko akateekerateekera ekibuga n’okuzimba nga bali wamu n’abakugu baalambudde...