TOP

Xavi asamye butendesi bwa Barcelona

Added 12th January 2020

Valverde ali ku ndeboolebo ya kukwatibwa ku nkoona oluvannyuma lw'omutindo gwa ttiimu omubi.

 Xavi eyaliko omuwuwuttanyi wa Barcelona.

Xavi eyaliko omuwuwuttanyi wa Barcelona.

EYALI omuwuwuttanyi wa Barcelona ne Spain, Xavi Hernandez akkirizza nga bwe yabaddeko mu kafubo n'abakungu ba ttiimu eyo gye buvuddeko.

Oluvuuvuumo luyiting'ana nti eyali omuwuwuttanyi ono y'agenda okuddira omutendesi Ernesto Valverde mu bigere essaawa yonna.

Omutindo gwa Barcelona mu kaseera kano mubi nga ne gye buvuddeko, Atletico yabakubye ggoolo 3-2 n'ebaggya mu kikopo kya Spanish Super Cup.

 alverde asuubirwa okugobwa ku butendesi bwa arcelona Valverde asuubirwa okugobwa ku butendesi bwa Barcelona.

 

Xavi, atendeka Al Sadd eya Qatar, yakkirizza okusisinkana Eric Abidal, akulira ebyekikugu mu Barcelona n'akulira emirimu mu ttiimu eyo Oscar Grau  kyokka yagaanyi okubuulira bannamawulire byonna bye baayogeddeko.

Yakkirizza nti kirooto kye okutendeka ttiimu gye yazannyira emyaka 17 n'agiwangulira ebikopo 25.

Xavi ye muzannyi akyasinze okuzannyira Barcelona emipiira emingi era mu 2008 ne 2012, yayamba Spain okuwangula ekikopo kya Bulaaya sso nga mu 2010 e South Afrika, yagiyamba okuwangula World Cup.

Ku Ssande, Barcelona yaakwambalagana ne Granada, emu ku ttiimu ezaagikuba mu gw'oluzannya olwasooka.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abawawaabirwa, Christine Guwatudde Kintu, Joel Wajala , John Martin Owor  ne Lutimba Kyeyune Fred Martin nga bali mu kaguli

Bana basimbiddwa mu kkooti ...

Abakungu bana okuva mu ofiisi ya Ssaabaminisita abavunaanibwa okulya eza COVID19 basindikiddwa mu kkooti ewozesa...

Sazir Lumala disitulikiti Kaadi w'e Mukono ng'ayogera n'abamawulire ku poliisi e Mukono.

Disitulikiti Kaadi w'e Muko...

Bya ERIC YIGA POLIISI e Mukono ekutte disitulikiti Kaadi waayo Sheikh Sazir Lumala naggulwako omusango gw'okukozesa...

Abasiraamu balabuddwa okuko...

BYA JAMES  MAGALA  Kino kidiridde Poliisi okuyoola abasiraamu 25 e Mpingi nga bagambibwa okuba abayeekera mu...

Bagudde ku mulambo gwa mutu...

Abatuuze b'e Kawaala zooni 2 mu divizoni y'e Rubaga baguddemu ekyekango bwe basanze mutuuze munnaabwe nga yafiridde...

Owoolubuto lw'emyezi 8 alum...

ZAKIYA Sayid omutuuze mu Sankala zooni-Lukuli mu munisipaali y'e Makindye apooceza mu ddwaaliro lya Ethel clinic...