TOP

Villa erumbye Busoga United e Jinja

Added 14th January 2020

SC Villa eri mu kyakuna n’obubonero 27 so nga Busoga United yaamusanvu n’obubonero 21.

 Abazannyi ba Villa mu kutendekebwa.

Abazannyi ba Villa mu kutendekebwa.

SC Villa-Busoga United 10:00

Proline-Vipers 10:30

Onduparaka-Maroons 10:30

Bright Stars-KCCA 10:30

BATABANI ba Edward Kaziba aba SC Villa bakomawo leero mu nsiike nga baagala kwemalako ssungu lya URA eyabakuba (2-0), mu mupiira ogwa gulawo oluzannya olwokubiri mu Startimes Uganda Premier League wiiki ewedde.

Bakuttunka ne Busoga United eyaakamegga Express (2-0). Kaziba aweze nga ttiimu ye bwetagenda kusuula mupiira gwakubiri gwamudirig'ana kuba beetaaga obubonero busatu okuzza emitima gy'abawagizi.

"Tugenda kuzannya mupiira gwakulumba bulumbi kuba twetaaga obubonero busatu okuddamu okuvuganya ku kikopo kya sizoni eno." Kaziba bwe yagambye.

 mutendesi wa illa aziba Omutendesi wa Villa Kaziba.

 

Abbey Kikomeko atendeka Busoga United asuubizza okusuuza SC Villa obubonero wadde ng'omuteebi we Joel Madondo yabaabulidde ne yeegatta ku Wydad Casablanca tekigenda kutulemesa kuba abakkiririzaamu. Mu luzannya olwasooka e Jinja, baakola maliri  (1-1).

SC Villa eri mu kyakuna n'obubonero 27 so nga Busoga United yaamusanvu n'obubonero 21.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

   Jane Nnabukeera eyasudde bbebi mu kabuyonjo

Wuuno maama eyasudde bbebi ...

Poliisi egamba nti Nnabukeera ng'amaze okusuula omnwana we mu kaabuyonjo yaddayo n'abikira abatuuze nga bwe yamufiiriddeko...

Mutumba eyakumye ku nnyumba ye omuliro ne mufiiramu bbebi we Nambooze

Akumye ku famire ye omuliro...

Ronald Mutumba okuva mu mbeera kiddiridde okukubira nga mukyala we Annet Mirembe amasimu nga tagakwata ate ng'olumu...

Abakulembeze mu Kawempe ben...

ABAKULEMBEZE ba LC mu Kawempe balaze obwennyamivu eri balandiroodi abasusse okugobaganya abapangisa nga babanja...

"Abatakisi bafunye obukodyo...

POLIISI erabudde nti egenda kukola ekikwekweeto ku batakisi abasiize endabirwamu z’ebidduka byaber langi nga bagenderera...

Gav't ekkirizza abagwiira 1...

UGANDA ekkirizza abagwiira 165 abaali basiibirwa muno ng’eggadde ensalo olw’obulwadde bwa COVID 19 okudda ewaabwe....