TOP

Kyetume erinze Tooro United

Added 14th January 2020

Enkya Kyetume ezannya Tooro United gye baggyeeko obubonero busatu oluvannyuma lw’abazannyi baayo okwebulankanya wiiki ewedde mu gwagulawo oluzannya olwokubiri.

 Kisekka

Kisekka

Mbarara City-Wakiso Giants 10:00

BUL-URA 10:30

Police-Express 10:30

Kyetume-Tooro United 10:30

Mohammed Kisekka abadde omutendesi wa Bright Stars nga kati yali mu Tooro United obwanga abwolekezza Kyetume ng'ayiga buwanguzi busooka okuva lwe yeegasse ku ttiimu eno wiiki ewedde.

Bukya sizoni etandika, Kisekka abadde atendeka Bright Stars nga mu mipiira 15 gye baazannye mu luzannya olusooka yawanguddeko gumu n'amaliri musaanvu ate emirala musanvu bagimukubye.

Enkya azannya Tooro United gye baggyeeko obubonero busatu oluvannyuma lw'abazannyi baayo okwebulankanya nga ttiimu egenda kuzannya Onduparaka wiiki ewedde e FortPortal mu gwagulawo oluzannya olwokubiri.

Tooro United y'emu ku kiraabu ezibaddemu ebizibu okuli obutasasula bazannyi, abazannyi obutaba na layisinsi zibakkiriza kuzannya saako ne ssentebe waabwe, Moses Tusiime okubabulira. Sizoni eno baakatendekebwa abatendesi okuli; Wasswa Bbosa, Eric Kawoowo Ndifuna ne Kisekka eyaakabeegattako. Bali mu kya 14 n'obubonero 14 ate Kyetume ya 12 n'obubonero 16.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mutumba eyakumye ku nnyumba ye omuliro ne mufiiramu bbebi we Nambooze

Akumye ku famire ye omuliro...

Ronald Mutumba okuva mu mbeera kiddiridde okukubira nga mukyala we Annet Mirembe amasimu nga tagakwata ate ng'olumu...

Abakulembeze mu Kawempe ben...

ABAKULEMBEZE ba LC mu Kawempe balaze obwennyamivu eri balandiroodi abasusse okugobaganya abapangisa nga babanja...

"Abatakisi bafunye obukodyo...

POLIISI erabudde nti egenda kukola ekikwekweeto ku batakisi abasiize endabirwamu z’ebidduka byaber langi nga bagenderera...

Gav't ekkirizza abagwiira 1...

UGANDA ekkirizza abagwiira 165 abaali basiibirwa muno ng’eggadde ensalo olw’obulwadde bwa COVID 19 okudda ewaabwe....

Fred Enanga

Ettemu n'okusobya ku baana ...

EBIKOLWA by’ettemu n’okusobya ku baana bikudde ejjembe mu biseera by’okwekuuma obulwadde bwa ssenyiga era poliisi...