TOP

Aba City Oilers 2 batambulira ku miggo

By

Added 22nd January 2020

ABAZANNYI ba City Oilers babiri mu liigi ya basketball eya babinywera,sizoni bagimazeeko nga batambulira ku miggo oluvannyuma lw’okulongoosebwa amaviivi .

 Aba City Oilers nga bafa essanyu olw'okuwangula empaka ez'omulundi ogwomusanvu

Aba City Oilers nga bafa essanyu olw'okuwangula empaka ez'omulundi ogwomusanvu

Wiiki ewedde omunigeria Francis Azolibe yalongooseddwa evviivi ly'okugulu kwa ddyo ne Steven Omony evviivi ly'okugulu kwa kkono, ababiri bano babadde mpagi luwaga mu kuyamba City Oilers okuwangula ekikopo kya sizoni wabula baafuna obuvune mu kiseera nga sizoni eneetera okuwunzikibwa.

Ku Ssande City Oilers yawangudde ekikopo kya Basketball ekyomusanvu mu sizoni musanvu ez'omuddiring'anwa  bwe baakubye UCU Canons ku bugoba 72-57  ku luzannya olwomusanvu ekyabafudde ttiimu ekyasinze okuwangula ekikopo kino emirundi emingi.

"Kiwa essuubi nti abazannyi baffe baalongoseddwa ne watabaawo buzibu bulala ate bubalukawo, era tusuubira nti bagenda kuwona mangu ate bakomewo ku ttiimu, tulina abazannyi bangi ate bonna basobola era tugenda kutambula n'abo mu mpaka ez'enjawulo," Mandy Juruni atendeka City Oilers bwe yategeezezza.

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaasomerako e Kako nga bawaayo ebintu

Abaasomerako e Kako bawadde...

ABAYIZI abaasoomerako e Kako abeegattira mu kibiina kya Kako Old Students Association (KOSA) badduukiridde essomero...

RDC Kirabira ne ssentebe Matia Bwanika nga batema ddansi. EBIFAANANYI BYA PETER SSAAVA

CAO wa Wakiso atabaganyizza...

Akabaga kano akaabaddewo ku Lwokuna ku Maya Nature resort mu ggombolola y'e Nsangi e Wakiso, keetabiddwaako abakulira...

Omugenzi Sgt. Dick Magala

Abapoliisi abaafiiridde mu ...

GIBADDE miranga na kwazirana ku kitebe ky’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango (CID) e Kibuli...

Ebimu ku bibala ebitwalibwa ebweru. Mu katono ye Kanyije.

Abatwala ebirime ebweru bee...

Abat wala ebirime ebweru w’eggwanga beemulugunya ku buseere bw’entambula y’ennyonyi ez’emigugu ng’ebisale byalinnyisibwa...

Ssentebe wa Luwafu B, Iga Gonzaga ng’annyonnyola abamu ku batuuze be ebyavudde mu kkooti.

Kkooti eyimirizza NEMA okug...

ABATUUZE b’e Kansanga abasoba mu 300 bafunye ku buweerero Kkooti Enkulu bw’efulumizza ekiragiro ekigaana ekitongole...