TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Omutendesi Kabonge awanduse mu Uganda Cup ne yeekwasa

Omutendesi Kabonge awanduse mu Uganda Cup ne yeekwasa

By

Added 22nd January 2020

OMUTENDESI wa Katwe United FC mu Big League Allan Kabonge yeekandazze n’ava ku kisaawe ng’ayomba oluvannyuma lwa ddirifi okugabira Proline FC Penati bwe baabadde battunka mu Stanbic Uganda Cup.

Enkya(Lwakuna) mu Uganda Cup

Koboko Rising Stars - Bright Stars,Koboko

Super Eagles - SC Villa,Gulu

Young Elephants - Maroons,Nwoya

Six O'clock - Kitara,Kizinda

Kampala University - Kataka,Luweero

Gagaba - Kiboga Young, Buziga

Proline yaggyeemu Katwe United mu kikopo kya Stanbic Uganda Cup bwe yagikubye ggoolo 2-1 mu kisaawe e Lugogo wabula omutendesi Kabonge n'okutuuka leero akyayomba nga yeekwasa ddifiri Shamirah Nabadda okubasaliriza eddakiika zonna 90 nga yeekubira ku ludda lw'abalina ekikopo kino aba Proline.

Katwe ye yasoose okufuna ggoolo mu kitundu ky'omuzannyo ekisooka ng'eyita mu Micheal Lubowa wabula Proline n'efuna penati mu ddakiika 68 ng'eyita mu Mustafa Mujuzi ate ne Hakim Kiwanuka n'afuna ey'obuwanguzi ng'ebula eddakiika 6 omupiira guggwe.

Kabonge agamba nti ddifiri Nabadda ye yabakubizza omupiira guno ng'ayeekubira ku ludda lwa Proline n'atuuka n'okubawa penati ey'amankyolo.

"Obwedda ddifiri ensobi ze batukolako yeefuula ataziraba, eyo penati teyabaddeyo, omuzannyi wa Proline yeesudde, emipiira nga gino egy'amaanyi FUFA yandibadde tegiwa baddifiri baakiboggwe," Kabonge bwe yeemulugunyizza.

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Embeera y'amasiro nga bwegali mu kiseera kino

Omuwanika wa Buganda Waggwa...

OMUMYUKA ow’okubiri owa Katikkiro era Omuwanika wa Buganda,Robert Waggwa Nsibirwa bwe yabadde asoma embalirira...

Abakozi abakolera mu Owino balaajanidde Gavumenti ku mmaali yaabwe

Abakolera mu Owino balaajan...

ABASUUBUZI abakolera mu katale ka St.Balikudembe balaze obutali bumativu olw'abeebyokwerinda okubagaana okutaasa...

Eyafumitiddwa ebiso nga bw'afaanana

Kamyufu afumise munne ebiso...

OLWAMAZE okufumita munne ebiso n’agenda nga yewaana nti, ‘mumaze naye agende yejjanjabe nga nange bwe ngenda okwejjanjaba’....

Nnamwandu Sarah Nassiwa ng'akungubagira bba

Kamyufu afumise munne ebiso...

OLWAMAZE okufumita munne ebiso n’agenda nga yewaana nti, ‘mumaze naye agende yejjanjabe nga nange bwe ngenda okwejjanjaba’....

Ronald Kyobe ng'alaga emmwanyi ze. Ebifaananyi bya Ssennabulya Baagalayina

Abalimi b'emmwanyi e Lwaben...

ABALIMI b'emmwanyi mu ggombolola y'e Lwabenge e Kalungu kwe basinzidde okusaba Gavumenti nti tekoma kubakunga wazira...