TOP
  • Home
  • Ebyemizannyo
  • Okuzannyisa ekyejo kye kyatulemesezza okuwangula omupiira-Abdallah Mubiru

Okuzannyisa ekyejo kye kyatulemesezza okuwangula omupiira-Abdallah Mubiru

Added 4th February 2020

Okuzannyisa ekyejo kye kyatulemesezza okuwangula omupiira-Abdallah Mubiru

 Coach Abdallah Mubiru

Coach Abdallah Mubiru

POLIISI 2-2 SC VILLA

POLICE ne SC Villa bongedde okulaga nti amaanyi bagenkanya oluvannyuma lw'okulemagana ggoolo 2-2 mu gwa liigi y'eggweanga.

Omupiira guno gubadde mu kisaawe ky'ekiwempe e Lugogo SC Villa mw'egukulemberedde emirundi ebiri nga bagiva emabega.

Bashir Mutanda ye yasoose okuteebera Villa mu ddakiika ye 15 abawagizi ba Villa ne balowooza nti guno bagumaze kyokka Andrew Samson Kigozi gye yavudde okukubira Police akatimba mu ddakiika ya 42 tebaategeddeyo.

Nga gubulako eddakiika emu okukyuka, Nicholas Kabonge  yakubidde Villa eyookubiri era ne guwummula 2-1.

Mu kitundu eky'okubiri, abazannyi ba Police okwabadde Pius Kagwa, Samuel Kayongo ne Johnson Odongo baayongedde okutaama ne banyiriza ekisenge kya Villa era okukakkana nga Kizito Fahad abakubye eyeky'enkanyi omupiira okukomekerezebwa ggoolo 2-2.

Amaliri gano gaayongedde okulaga nti ttiimu zino buli emu etya ginaayo kuba kati mu mipiira 11 egisembyeyo mu liigi, balemaganyeemu emirundi 9 ate Villa n'ewangulako 2.

Kino kyalese Villa eri mu kyakusatu ku bubonero 34 sso nga Police yagenze mu kifo kya 12 ku bubonero 22 ng'ewangudde emipiira 7 gyokka ku 20.

Abdallah Mubiru atendeka Police yategeezezza nti abazannyi be bayitirizza okuzannyisa ekyejjo kuba ggoolo zombi zaavudde mu bulagajavu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusajja yansuulawo ng'omwa...

Nze Scovia Twetise 28, mbeera Bulamu-Gazaya, Texas. Mu 2005, nalina emyaka 15 omusajja yantuukirira n’ahhamba nti...

Eyagenda okusoma ddiguli e ...

Talina mpapula kw’akolera era agamba tasobola kudda kubanga bw’adda taddayo

Abatudde okuva ku kkono; Godfrey Nyola, Saul Kizito, Isaac Ngobya ne Pasita Paul Musisi ate abayimiridde okuva ku kkono; Kennedy Lubogo, Edward Baguma, Jimmy Ssekandi

Aba 'Former Footballers In...

Abaaguzannyako abaabaddewo kuliko; Saul Kizito (Nile FC), Isaac Ngobya (Bell), aba Express okuli Kennedy Lubogo,...

Kamaanyi eyatolosa Ssekabak...

Dan Kamaanyi, eyatolosa ssekabaka Muteesa II ekibabu kya Milton Obote eyalumba olubiri mu 1966 ng'ayagala okumutta,...

Muyigire ku bajulizi abakki...

MUK'OMULABIRIZI wa West Buganda Can.Elizabeth Julia Tamale y'ayigirizza mu kusaba okw'okujjukira abajulizi ba...