TOP

KCCA ekubye Maroons ne yeyongera okussa Vipers ku puleesa

Added 4th February 2020

KCCA ekubye Maroons ne yeyongera okussa Vipers ku puleesa

KCCA 2-1 Maroons

KCCA FC yeyongedde okuteeka Vipers ku puleesa y'ekikopo kya liigi y'eggwanga.

Kiddiridde okuwangula Maroons ggoolo 2-1 mu guzannyiddwa e Lugogo neyeenywereza mu kyokubiri ku bubonero 44 emabega wa Vipers ekulembedde ku 46.

Muzamir Mutyaba ye yasoose okuteebera KCCA mu ddakiika ye 21 okwazze eya Erisa Sekisambu mu ddakiika ya 35 era ne guwummula ggoolo 2-0.

Mu kitundu eky'okubiri, Maroons yakomyewo na maanyi n'enyigiriza ekisenge kya KCCA omwabadde Peter Magambo ‘Machete',  Hassan Musana, Philbert  Obenchan ne Moses Aliro era okukakkana nga Magambo yeeteebye.

Oluvannyuma lwa ggoolo eno, omutendesi wa KCCA, Mike Mutebi yakoze enkyukakyuka okugyayo Mike Mutyaba okuyingiza Sunday Opio ne Saddam Juma okusikira Keziron Kizito.

Obuwanguzi buno bwayongedde okuyamba KCCA okuteeka Vipers ku puleesa kuba kati bagisinga obubonero 2. KCCA erina obubonero 44 ate Vipers ekulembedde, erina 46 kyokka nga ebanjayo omupiira gumu.

Guno gwe mupiira gwa Saddam ogw'asoose okuzannyira ttiimu eno bukya afuna buvune ku ntandikwa ya sizoni eno.

Mike Mutebi atendeka KCCA, ategeezezza nti mu kaseera kano buli mupiira mukalubu nnyo era balina okwongera okukyusa mu bukodyo kuba buli ttiimu ejja ebeeweredde okubafiirako.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulambo gwa Lubanga nga kukomezebwawo awaka. Ku ddyo, ye Ssendi eyasse kitaawe

Akubye kitaawe akakumbi ku ...

OMUVUBUKA akkakkanye ku kitaawe n’amutema enkumbi bbiri ku mutwe n’amutta ng’amulanga okumulyako emmere buli lunaku...

Abaana nga bagumbye ku

Bakubye ssengaabwe mu mbuga...

ABAANA batutte ssengabwe mu kakiiko k'eggombolola y'e Kyazanga nga bamulumiriza okubawuddiisa ne yezibika obukadde...

Komakech n'ebizibiti bye ku poliisi y'e Kawanda.

Abadde yakayimbulwa e Luzir...

Komakech ategeezezza nga bwabadde agenda okufa enjala nga yali asiiga njala z’abakazi wabula okuva bwe bayimiriza...

Testing video to see if it ...

aojdjadjdadojajdndn

Omusajja yansuulawo ng'omwa...

Nze Scovia Twetise 28, mbeera Bulamu-Gazaya, Texas. Mu 2005, nalina emyaka 15 omusajja yantuukirira n’ahhamba nti...