TOP

Capt. Mike Mukula akomyewo mu mmotoka z'empaka

Added 10th February 2020

Capt. Mike Mukula akomyewo mu mmotoka z'empaka

 Mike Mukula ne munne nga begeyaamu

Mike Mukula ne munne nga begeyaamu

KALENDA ya 2020 mu muzannyo gw'emmotoka tegenda kukoma ku kuleeta bavuzi bapya wabula ekomezzaawo n'abakadde.

Capt. Mike Mukula, ye muvuzi eyaakasembayo okulangirira nga bw'agenda okudda mu muzannyo. Mukula yaguze emmotoka ya Kuku Ranjit era ku Ssande yasiibye Busiika nga yeegezesa mpozzi n'okwejjukanya engeri gye bakubamu ggiya mu z'empaka.

"Nneetaaga wiiki endala nga 3 okuddamu okumanyira obulungi emmotoka y'empaka n'okwejjukanya ddi lweninna okukola ki.

Omuzannyo guno gwetaaga ng'olowoolezaawo ate n'osalawo mu budde obutawera sikonda 5 kuba gutambulira ku budde. Nsuubira omwezi ogujja njakuba nsobola okuvuganyizza ddala n'abavuzi abalala kuba omuzannyo siguddeemu muggwe." Mukula bwe yagambye.

Mukula eyali amanyikiddwa nga ‘Flying Mike', yasemba okuvuga mu 2007 bwe yali mu mpaka zaakafubutuko ezaali mu Botanical Gardens e Ntebbe. Yali mu mmotoka Toyota Corolla GT4 wabula ku luno agenda kubeera mu Subaru Impreza N14.

Mu ngeri y'emu, abavuzi bali mu kwetegekera zigulawo kalenda y'omwaka guno etandika ku wiikendi eno n'empaka za Rukaari - Lake Mburo Mbarara Rally. Abavuzi 35 be baakakakasa okwetaba mu mpaka zino ezigenda okuvuganyizibwa ku buwanvu bwa kiromita 171.55 okumala ennaku 2.  Arthur Blick Jr yaasuubirwa okugulawo ekkubo

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bannalotale mukwatizeeko Ka...

OMUBAKA wa gavumenti e Kalungu Pastor Caleb Tukaikiriza akubirizza Bannalotale beeyambise omutima gw'ekibiina kyabwe...

Embeera y'amasiro nga bwegali mu kiseera kino

Omuwanika wa Buganda Waggwa...

OMUMYUKA ow’okubiri owa Katikkiro era Omuwanika wa Buganda,Robert Waggwa Nsibirwa bwe yabadde asoma embalirira...

Abakozi abakolera mu Owino balaajanidde Gavumenti ku mmaali yaabwe

Abakolera mu Owino balaajan...

ABASUUBUZI abakolera mu katale ka St.Balikudembe balaze obutali bumativu olw'abeebyokwerinda okubagaana okutaasa...

Eyafumitiddwa ebiso nga bw'afaanana

Kamyufu afumise munne ebiso...

OLWAMAZE okufumita munne ebiso n’agenda nga yewaana nti, ‘mumaze naye agende yejjanjabe nga nange bwe ngenda okwejjanjaba’....

Nnamwandu Sarah Nassiwa ng'akungubagira bba

Kamyufu afumise munne ebiso...

OLWAMAZE okufumita munne ebiso n’agenda nga yewaana nti, ‘mumaze naye agende yejjanjabe nga nange bwe ngenda okwejjanjaba’....