TOP

Orlando Brothers bakakasizza okwetaba mu za Digi e Busiika

Added 12th February 2020

Orlando Brothers bakakasizza okwetaba mu za Digi e Busiika

Orland Brothers bakafulu mu kubonga ddigi bakakasizza nga bwe bagenda okwetaba mu mpaka za Busiika Motorcross Challenge ku Ssande eno

Alon,Stav ne Aviv Orland abavugira mu mitendera egy'enjawulo basuubizza abawagizi baabwe okubawa ebipya bye bayize okuva mu mawanga ag'enjawulo okuli Israel,Amerika ne South Afrika.

 Abavuzi bano babadde betegekera empaka ez'omuzinzi e South Afrika ku lunaku lwe lumu ekibiina ekipya ekya Motorcycling Association of Uganda bwe kyatagekedde eza Busiika Motorcross Challenge,ne basalawo nti nazo baakuzetabamu.

Evas Orland maama w'abaana bano yagambye nti bakola bukubirire okulaba ng'abavuzi bano babeera ku lunaku mulindwa olwa ssande kuba basooka ku ttunka mu mpaka ze South Afrika ku lwomukaaga balinnyirewo ennyonyi enkeera babeere bataka mu ggwanga mu mpaka kafungula nkete eza Busiika Challenge.

Bano bali basemba okuwa abawagizi baabwe essanyu mu mpaka ezaali eza kasameeme eza Armed Forces Motorcross Championship mu October nga 6 omwaka oguwedde e Busiika.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Minisita Janet Museveni ala...

Minisita w'ebyenjigiriza mu ggwanga Janet Museveni naye atuuse e Makerere University  ku kizimbe ekikuklu ekya...

David Lukyamuzi

Owa KACITA abadde omusaale ...

Abasuubuzi mu Kikuubo baguddemu ekyekango munnaabwe David Lukyamuzi Wangi ate nga mukulembeze mu kibiina kya KACITA...

Nnankulu wa Kampala alaze p...

NANKULU wa Kampala Dorothy Kisaka ayanjulidde Banakampala ebiri muntekateeka ey'emyakka 5 gyasuubira okugoberera...

Ekizimbe kya Ivory Tower e ...

Amyuka Cansala wa Makerere University Polof. Barnabas Nawangwa atuuse ku ofiisi y'ebyensimbi n'evunaanyizibwa ku...

Spoon X Lounge bataddewo amaduuka

Corona anyize ab'ebbaala ne...

Eyo y'embeera ekirwadde kya corona we kituusizza bannannyini bifo ebisanyukirwamu naddala ebbaala. Oluvannyuma...