TOP
  • Home
  • Ebyemizannyo
  • Ebyaviiriddeko Livingstone Mbabazi okufuumulwa ku Team ya Waksio Giants

Ebyaviiriddeko Livingstone Mbabazi okufuumulwa ku Team ya Waksio Giants

Added 12th February 2020

Ebyaviiriddeko Livingstone Mbabazi okufuumulwa ku Team ya Waksio Giants

 Livingstn Mbabazi eyagobeddwa ku team ya wakiso Giants

Livingstn Mbabazi eyagobeddwa ku team ya wakiso Giants

KIRAABU ya Wakiso Giants ezannyira mu liigi ya babinywera eya Startimes Uganda Premier League efuumudde Livingston Mbabazi oluvannyuma lw'okwolesa omutindo omubi.

Mbabazi yabweebwa omulimu guno ng'asikira Kefa Kisala mu November w'omwaka oguwedde ku ndagaano y'amyaka ebiri ng'ava mu kiraabu ya Onduparaka FC mu Arua.

Mbabazi bukya yegatta ku ttiimu eno ebintu tebimutambulidde bulungi ku kisaawe kya Kabaka Kyabaggu Stadium e Wakiso nga mipiira musanvu gy'azannya awanguddeko ebiri,amaliri gamirundi ebiri n'okukubwa emipiira esatu.

Kino kidiridde ttiimu okukubwa Tooro United 2-1 ebadde esitaana mu liigi e Fort Portal oluvannyuma lw'omutendesi obutakwatagana n'abazannyi ekintu ekyamuviriddeko okumufuumula.

Ttiimu agirese mu kifo kya mwenda mu liigi n'obubonero 25 nga kati eyaliko ssita wa ttiimu eno Stevn Bengo yagenda okugikwatamu akaseera.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Embeera y'amasiro nga bwegali mu kiseera kino

Omuwanika wa Buganda Waggwa...

OMUMYUKA ow’okubiri owa Katikkiro era Omuwanika wa Buganda,Robert Waggwa Nsibirwa bwe yabadde asoma embalirira...

Abakozi abakolera mu Owino balaajanidde Gavumenti ku mmaali yaabwe

Abakolera mu Owino balaajan...

ABASUUBUZI abakolera mu katale ka St.Balikudembe balaze obutali bumativu olw'abeebyokwerinda okubagaana okutaasa...

Eyafumitiddwa ebiso nga bw'afaanana

Kamyufu afumise munne ebiso...

OLWAMAZE okufumita munne ebiso n’agenda nga yewaana nti, ‘mumaze naye agende yejjanjabe nga nange bwe ngenda okwejjanjaba’....

Nnamwandu Sarah Nassiwa ng'akungubagira bba

Kamyufu afumise munne ebiso...

OLWAMAZE okufumita munne ebiso n’agenda nga yewaana nti, ‘mumaze naye agende yejjanjabe nga nange bwe ngenda okwejjanjaba’....

Ronald Kyobe ng'alaga emmwanyi ze. Ebifaananyi bya Ssennabulya Baagalayina

Abalimi b'emmwanyi e Lwaben...

ABALIMI b'emmwanyi mu ggombolola y'e Lwabenge e Kalungu kwe basinzidde okusaba Gavumenti nti tekoma kubakunga wazira...