TOP

Nakirijja ayabulidde team ya Dolphins

By

Added 12th February 2020

Nakirijja ayabulidde team ya Dolphins

 Nakirijja

Nakirijja

NAKIRIJJA AYABULIDDE JKL DOLPHINS

Omuzannyi  abadde akyasinze okuwangaala mu ttiimu ya JKL Dolphins okumala emyaka etaano Peace Nakirijja ayabulidde bakyampiyoni b'ekikopo ky'abakyala emyaka ebiri egy'omuddiring'ana(2018 ne 2019) mu Basketball nga yeekengedde nti ffoomu ye eyinza okumwokesa akatebe sizoni ejja.

 "Sizoni eweddeko nga sifuna budde bumala ku kisaawe ate endagaano yange yaweddeko,ttiimu yabadde ekyayagala nsigale naye ndaba nga kati ennono yaabwe eri ku baana bato ekintu nange kye mpagira, kwe kusalawo mbawe omukisa naye nga ngenda kufuna ttiimu mu liigi ya babinywera mweng'enda okuzannyira," bwe yakakasizza.

Nakirijja agamba nti ttiimu ye bw'ebadde mu mpaka za zone 5 newankubadde ekikopo baakiwangula naye yali yeesunze okuzannya ekimala wabula abakungu ba ttiimu beewola abazannyi ba UCU ne Nkumba okuli;Zaina Lokwameri,Rose Akon, Sarah Ageno(UCU), Brenda Akon(Nkumba) olwo ye akatebe ne kamwokya.

Mu ngeri y'emu, A1 Challenge mu liigi ya babinywera eya Basketball abakyala, esazeeko abazannyi basatu okuli; Georgia Adhiambo(Kenya),Agnetta Kambua(Kenya) ne Elizabeth Akol(Uganda)

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mwanje (wakati) nga "bamunywedde"

Ofiisa munsonyiwe nva kuziika!

MAKANIKA eyeeyise owa poliisi bamukutte n’alwanagana n’abaserikale ng’agamba nti tebalina kye bayinza ku mukola....

Abawawaabirwa, Christine Guwatudde Kintu, Joel Wajala , John Martin Owor  ne Lutimba Kyeyune Fred Martin nga bali mu kaguli

Bana basimbiddwa mu kkooti ...

Abakungu bana okuva mu ofiisi ya Ssaabaminisita abavunaanibwa okulya eza COVID19 basindikiddwa mu kkooti ewozesa...

Sazir Lumala disitulikiti Kaadi w'e Mukono ng'ayogera n'abamawulire ku poliisi e Mukono.

Disitulikiti Kaadi w'e Muko...

Bya ERIC YIGA POLIISI e Mukono ekutte disitulikiti Kaadi waayo Sheikh Sazir Lumala naggulwako omusango gw'okukozesa...

Abasiraamu balabuddwa okuko...

BYA JAMES  MAGALA  Kino kidiridde Poliisi okuyoola abasiraamu 25 e Mpingi nga bagambibwa okuba abayeekera mu...

Bagudde ku mulambo gwa mutu...

Abatuuze b'e Kawaala zooni 2 mu divizoni y'e Rubaga baguddemu ekyekango bwe basanze mutuuze munnaabwe nga yafiridde...