TOP

Abasituzi b'obuzito batutte emidaali mu NCS

Added 19th February 2020

Abasituzi b'obuzito batutte emidaali mu NCS

ABA team y'eggwanga ey'okusitula obuzito eya Crane Lifters batutte emidaali n'ekikopo bye baawangudde mu mizannyo gy'ensi yonna egyetabiddwamu amawanga g'Obusiraamu 47 ne bagyanjula mu kakiiko akavunanyizibwa ku mizannyo aka NCS e Lugogo.

Babikwasizza omumyuka wa ssabawandiisi wa NCS David Katende

Pulezidenti wa Uganda Weightlifting Federation (UWF), Salim Musoke y'akulembedde ekibinja n'agamba nti Uganda ekyalina emikisa okugenda mu Olympics ze Japan 2020 singa gavumenti eneetekamu ensimbi abazannyi okwongera okuvuganya mu mpaka za mirundu ebiri ezisigaddeyo okuggalawo okusunsula abanaagenda e Tokyo.

Uganda yakutte kyakutaano mu mpaka ezaabadde mu kubuga Tashkent mu ggwanga lya Uzbekistan nga February 8-13.

Omuzannyi Davis Nyiyoyita ye yawangudde emidaali gya gy'ekikomo (Bronze) esatu bwe yasitudde kiro 197 omugatte.

Abazannyi abalala abaavuganyizza ye Zubair Kubo, Hakim Ssempereza ne Mubarak Kivumbi

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oba Daddy Andre ne Nina Roz...

Getwakafuna ge g’omuyimbi ow’erinnya Daddy Andre alabikidde mu bifaananyi ku mukutu gwa Twitter ng’ali n’omuyimbi...

Chanddiru ne mukwano gwe ng'amubudaabuda.

Omusomesa eyakubiddwa ttiya...

OMUSOMESA eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu liiso alongooseddwa n’akukkulumira poliisi olw’obuvune bwe yamutuusizzaako...

Musumba munsabireko embeera...

WALIWO enjogera egamba nti mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera. Enjogera eno yatuukidde bulungi ku muyimbi Sofie...

Ab'e Mbale basabye Kiwanda ...

ebyetaaga okutumbula mulimu; ekkuumiro ly’ebisolo erya Elgon National Park, ebiyiriro by’e Sipi, olusozi Masaba...