TOP

YMCA ezze kwesasuza St lawrence mu za University liigi

By

Added 4th March 2020

YMCA ezze kwesasuza St lawrence mu za University liigi

Mu Pepsi University League

YMCA - SLAU(Leero Lwakusatu)

Bugema - Gulu(enkya Lwakuna)

OKUDDA kw'abasambi basatu ku ttiimu ya St.Laurence University(SLAU) kuwadde omutendesi Davis Nnono amaanyi g'okufuna obuwanguzi obwokubiri obw'omuddiring'anwa mu liigi ya yunivasite sizoni eno.

SLAU eyakubwa UCU ku fayinolo omwaka oguwedde, yakubye Bishop Stuat Univasity(BSU) 4-1 mu gwagguddewo sizoni nga terina Bruno Bunyaka, Umar Kayemba ne Isiah Ssabbiiti abakomyewo okuva mu buvune.

Leero(Lwakusatu) bakyalidde YMCA ku kisaawe ky'e Buwambo nga baagala kufuna buwanguzi bwakubiri sizoni eno okutangaaza emikisa gy'okuva mu kibinja D. Baakasisinkana emirundi ena, SLAU ewanguddeko esatu n'amaliri ga mulundi gumu.

"Neeyongedde amaanyi olw'abazannyi bannge abawonye obuvune,okusobola okuva mu kibinja tetwagala kusuula yadde akabonero, gyonna twagala busatu era olwa leero zinadda okunywa," Davis Nnono atendeka SLAU bwe yategeezezza.

Ate Dancan Bwabye atendeka YMCA naye awera nga bw'alina ebbanja ku SLAU nti tagiwangulangako okumala sizoni bbiri emabega. "SLAU yatumannyiira nnyo sizoni ewedde bwe yatukubira awaka ne kubugenyi (2-0),era twagala kubeesasuza," Bwabye bwe yakkaatirizza.

Simon Tabu Orem, Tito Ssematimba ne Mark Nsubuga aba SLAU balwadde ate Rashid Mbahabwe owa YMCA naye mulwadde.

SLAU y'ekulembedde ekibinja D n'enjawulo ya ggoolo 3 z'esinza YMCA gye benkanya obubonero(3).  

 

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kajoba azzeemu okukwatagana...

Ku wiikendi Vipers SC yawadde omutendesi Kiwanuka endagaano ya myaka ebiri okumyuka omutendesi Fred Kajoba ng’ono...

Ennyumba Aligo gy'asulamu wamu ne bazzuku

WORLD POPULATION DAY: Abant...

KU Lwomukaaga nga July 7 lunaku lwa nsi yonna olw’obungi bw’abantu era eggulo we lwatuukidde nga mu Uganda mulimu...

   Jane Nnabukeera eyasudde bbebi mu kabuyonjo

Wuuno maama eyasudde bbebi ...

Poliisi egamba nti Nnabukeera ng'amaze okusuula omnwana we mu kaabuyonjo yaddayo n'abikira abatuuze nga bwe yamufiiriddeko...

Mutumba eyakumye ku nnyumba ye omuliro ne mufiiramu bbebi we Nambooze

Akumye ku famire ye omuliro...

Ronald Mutumba okuva mu mbeera kiddiridde okukubira nga mukyala we Annet Mirembe amasimu nga tagakwata ate ng'olumu...

Abakulembeze mu Kawempe ben...

ABAKULEMBEZE ba LC mu Kawempe balaze obwennyamivu eri balandiroodi abasusse okugobaganya abapangisa nga babanja...