TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Emipiira gya CAF okuli n'ogwa Cranes giggyiddwaawo: Coronavirus abizadde

Emipiira gya CAF okuli n'ogwa Cranes giggyiddwaawo: Coronavirus abizadde

Added 15th March 2020

ABAKULIRA omupiira mu Afrika, aba CAF, baggyewo emipiira gyonna egibadde egy’okubaawo wiikendi ejja oluvannyuma lw’ekirwadde kya ssennyiga w’e China okusensera ensi yonna.

Onyango (wansi) ng’anyize ennyanda ya Zimbabwe mu mpaka za Afrika ezaali e Misiri omwaka oguwedde.

Onyango (wansi) ng’anyize ennyanda ya Zimbabwe mu mpaka za Afrika ezaali e Misiri omwaka oguwedde.

Cranes, ebadde yaakuzannya South Sudan nga March 28 kyokka kino tekikyabaddewo nga CAF yaakulangirira olunaku olulala emipiira gino lwe gigenda okubeerawo.

"Twekkennenyezza buli kimu, twogerezeganya bulungi n'ekibiina ekikulira eby'obulamu mu nsi yonna (World Health Organisation) era tukizudde nti embeera eri mu nsi yonna tetusobozesa kutegeka mipiira wiikendi ejja," Ekiwandiiko ekyateekeddwaako omukono akola nga ssaabawandiisi wa CAF, Abdel Bah, bwe kya nnyonnyodde.

CAF egamba nti kiraabu nnyingi zigaanyi abazannyi baayo okuvaayo mu kiraabu olw'ekirwadde, nnyingi ku nnyonyi tezikyatambula ate abazannyi baffe abasing bava mu gamu ku mawanga agasumbuyiddwa ennyo ekirwadde kino.

Empaka nnyingi mu nsi zonna zigenze zongezebwawayo olw'ekirwadde kino.

ABAZANNYI BAABADDE BAAGAANIDDWA:

Kino we kituukiddewo ng'abazannyi ba Cranes bali mu mawanga agalimu akawuka ka coronavirus babadde bagaaniddwa okujja oluvannyuma lwa Minisita w'ebyobulamu, Jane Ruth Aceng okuyisa ekiragiro ku Lwokuna nti tewali muntu agenda kuddamu kuyingira Uganda ng'ava mu nsi 9 okumala ebbanga eritali ggere wadde nga Munnayuganda oba mugwira.

Yannyonyodde nti amawanga okuli; Spain, Yitale, Bufalansa, China, San Marino, South Afrika, Belgium, Amerika, Budaaki, Sweden, Norway, Iran, Austria, Malaysia ne Bungereza.

Kino kitegeeza nti abazannyi ba Cranes mukaaga nga bakulembeddwaamu kapiteeni waayo Denis Onyango (South Afrika) babadde si baakukkirizibwa kuzannya gwa South Sudan. Onyango ne Moses Waiswa bali South Afrika, Mike Azira (Amerika), Ronald Mukiibi ne Alexis Bakka (Sweden) Elvis Okello Bwomono ne Jayden Onen (Bungereza).

"Ekiragiro kino tekitaliza muntu yenna kasita abeera ng'ali mu mawanga ago era tulina okukigondera okutuusa ng'ekirwadde kino kiweddewo," Minisita Aceng bwe yagambye.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Embeera y'amasiro nga bwegali mu kiseera kino

Omuwanika wa Buganda Waggwa...

OMUMYUKA ow’okubiri owa Katikkiro era Omuwanika wa Buganda,Robert Waggwa Nsibirwa bwe yabadde asoma embalirira...

Abakozi abakolera mu Owino balaajanidde Gavumenti ku mmaali yaabwe

Abakolera mu Owino balaajan...

ABASUUBUZI abakolera mu katale ka St.Balikudembe balaze obutali bumativu olw'abeebyokwerinda okubagaana okutaasa...

Eyafumitiddwa ebiso nga bw'afaanana

Kamyufu afumise munne ebiso...

OLWAMAZE okufumita munne ebiso n’agenda nga yewaana nti, ‘mumaze naye agende yejjanjabe nga nange bwe ngenda okwejjanjaba’....

Nnamwandu Sarah Nassiwa ng'akungubagira bba

Kamyufu afumise munne ebiso...

OLWAMAZE okufumita munne ebiso n’agenda nga yewaana nti, ‘mumaze naye agende yejjanjabe nga nange bwe ngenda okwejjanjaba’....

Ronald Kyobe ng'alaga emmwanyi ze. Ebifaananyi bya Ssennabulya Baagalayina

Abalimi b'emmwanyi e Lwaben...

ABALIMI b'emmwanyi mu ggombolola y'e Lwabenge e Kalungu kwe basinzidde okusaba Gavumenti nti tekoma kubakunga wazira...