TOP

Corona Virus ereeseewo okutya mu nkambi y'okubaka

Added 18th March 2020

Corona Virus ereeseewo okutya mu nkambi y'okubaka

Bya Gerald Kikulwe

EKIBIINA ekifuga omuzannyo gw'okubaka mu ggwanga ekya Uganda Netball Federation(UNF) kifunye okwekanga oluvannyuma lwa Kenya okulangirira nga bw'etegenda kwetaba mu mpaka za East African Club Championship.

Uganda be bategesi b'empaka zino era nga zisuubirwa okubeera mu MTN Arena e Lugogo ku wiikendi eno,zaakwetabwamu ttiimu empanguzi ku lukalu lw'obuvanjuba bw'Afrika(Kenya, Tanzania, Zanzibar ne Uganda).

Olw'ekirwadde kya Coronavirus, Kenya yavudde mu mpaka zino ekireeseewo obweralikirivu eri abategesi nti n'amawanga amalala gandyefuula ne gatajja ekiyinza okubayingiramu kuba babadde bamaze okusasula buli ekyetaagisa empaka zino okuzannyibwa.

Wilberforce Mutete ayogerera ekibiina ky'okubaka mu ggwanga agamba nti enteekateeka zonna zibadde ziwedde wabula bali mu kutya ssinga empaka zino tezibaawo okuva Kenya bw'evuddemu.

 

"Bulijjo ensi emu bw'evaamu tekigaana ndala kuzannya, naye obweraliikirivu we buli, n'abalala bayinza obutajja, naye ttiimu zaffe zigenda mu maaso n'okutendekebwa," Mutete bwe yategeezezza.

Agattako nti eggulo(Lwakubiri) yasobodde okwogerako  ne ssaabawandiisi wa Zanzibar ku ssimu n'amugamba nti nabo tebamanyi oba banajja naye nga ttiimu zaabwe ziri mukutendekebwa .

"Ttiimu zonna tuzisuubira okuba nga zituuse wano obutasussa Lwakutaano, bwe lunaazibira enkya(Lwakuna) tujja kuba tumanyi ekituufu.

Ttiimu za Uganda okuli; KCCA, Police, UPDF, Prison ne NIC abalina ekikopo kinoze zisuubirwa okwetabamu

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kabaka tebagenda kumukongoj...

KABAKA Mutebi II si wakukongojjebwa ng’Obuganda bukuza amatikkira ge ag’omulundi ogwa 27 olw’okutya okusasanya...

Ow'emifumbi eyagobeddwa mu ...

OMUZANNYI w’emifumbi Geoffrey Lubega eyagobeddwa mu nyumba olw’okulemererwa okusasula ensimbi z’obupangisa adduukiriddwa....

Empaka za FEASSSA zisaziddw...

OMUKISA gwa Uganda okulwanirira okweddiza ekikopo ky’emizannyo gy’amasomero ga ssiniya ag’obuvanjuba bw’Afrika...

Nankabirwa ng'asanyusa bato banne

Omuyimbi muzibe asaba kuvuj...

BYA SOPHIE NALULE Angel Nankabirwa ow'emyaka 12 bw'omuwulira ng'ayimba ku muzindaalo odduka mbiro otere esange...

Kabineeti eteesezza okuggul...

KABINEETI eggulo yateesezza ku kuggulawo akeedi n’ebirina okussibwa mu nkola nga ziggulwawo.